Omubaka w'essaza Bbaale mu Palamenti, George Wilson Nsamba Kumama yeyasikidde abantu bano emmere okuli ttani 12 ez'obuwunga ne ttani mukaaga ez'ebijanjaalo.
Omubaka Kumama agambye nti emmere eno yagisakidde abantu abaafiirwa ebintu byabwe olw'omujjuzo gw'enyanja amazzi bwe gaabayingirira mu mayumba n'ennimiro era emisiri gy'emmere amazzi gaagikulukusa abantu me basigala nga tebalina kyakulya.
Gavumenti era ebawadde n'amatundubaali 100 ne bulangiti bigabirwe abantu ababadde basula mu ebweru kubanga mu mayumba amazzi gaabagobamu.
Emmere n'ebintu byakugabirwa abantu ku byalo 38 okuli Kyedikyo, Kambatani, Kawongo, Galiraaya n'ebirala.
RDC wa Kayunga Margaret Mwanamoiza asabye abagaba emmere basookere ku bakadde n'abalwadde.
Ssentebe wa Galiraaya ku lw'abatuuze asiimye olw'obuyambi buno.