George Muzaale yawasizza omugole n'amuleeta awaka wabula mukyala mukulu yasitudde olutalo omugole yasuze ekiro kimu mu nyumba enene n'abafuumula olwo Muzaale n'omugole me badda ku "boys quarter" okusula mutabani ne mukamwana.
Margaret Nankumba mukyala mukulu ye yagobezza Muzaale omugole Rhona Ninsiima era bano bamaze mu bufumbo emyaka 39 ne bazaala abaana nga kati bakuze.
Mukyala mukulu Nankumba era yakubye enkanda nti kikafuuwe Muzaale okusuza omugole ku luggya kw'abeera.
Ensonga mukyala mukulu yazitutte mu ofiisi ya RDC w'e Kayunga era ono yatumyeyo Collins Kafeero avunaanyizibwa ku kusitula embeera z'abantu era yatuuzizza olukiiko ku kyalo abafumbo bano buli omu n'ayanja ekimuluma.
Mukyala mukulu yanenyezza Muzaale olw'okumutulugunya nga amukuba, amuwemula mu baana, yagaana okusomesa abaana, talina ky'amuwa era olumu yamusaba ku sapatu ayambalemu kubanga nigiina zimwokya kyokka omwami yerema kati kuno kwe yatadde eky'okumuzzaako omugole ate n'amuleeta mu makaage.
Mu birala ebiruma omukyala ye bba Muzaale okusalaasala ku kibanja n'atunda nga bwe yeegula mu bak'abasajja n'abasigula era nga n'ono aliko omusajja gwe yamupasuddeko.
Muzaale yafukamidde ne yeetondera mukyala mukulu eyakalambidde nti ateekwa okuggyawo omugole, wabula obusungu bwakutte omugole n'ava mu lukiiko.
Muzaale yeegaanyi eby'okuwemula wabula n'akalambira nti wadde omugole agenda kumusengule bakimanye nti akyawasa abalala.
Kafeero yalabudde Muzaale okukomya okutunda ekibanja, era akomye n'okukuba omukazi.
Yamulagidde addemu atwala obuvunanyizibwa mu maka nga nyinimu n'awa Muzaale wiiki emu nga amaze okusengula omugole.