Wednesday, June 10, 2020

Abavuzi ba loole abali mu kalantiini e Kayunga beekalakaasizza

Abavuzi ba loole abali mu kalantiini e Kayunga beekalakaasizza




Ab'obuyinza e Kayunga era bategeezezza nga bwe bafunyeyo abantu abalala babiri abalina ekirwadde kya ssenyiga omukambwe nga kati abalwadde e Kayunga baweze 10.

Ababiri bavuzi ba loole ezitwala ebirime e Sudan nga omu Ndugga Moses avuga loole UBF 529Y mutuuze w'e Kangulumira ate omulala Paul Wanzala avuga UBF 359R w'e Nazigo.

Bano baakeberebwa gye buvuddeko ku nsalo ya Elegu nga bava e South Sudan nga kati baakakasiddwa nti balina ssenyiga eno owa COVID-19.

Okuva bano lwe baafunise ab'akakiiko baatandise okuyigga buli eyaliko nabo era kino kyaleeseewo omujjuzo mu kifo kya kalantiini.

Bano kati abasoba mu 100 bebamu kwabo abaaleteddwa mu kifo kino nga kigambibwa nti baali babeera n'abavuzi ba loole abaakakasibwa okubeera n'ekirwadde kya COVID-19.

Bagamba tebalina mifaliso era bangi basula ku ttaka saako okutulugunyizibwa mu ngeri ezitali zimu omuli n'ebyokulya.

Beemulugunya ne ku basawo nti balina ekkabyo kwossa ab'amagye nti babakuba.

Bagamba nti abamu ennaku 14 ze balina okumala mu kalantiini zaagwako kyokka ne babongerayo endala 14 okuweza 28 kyebagamba nti kibanyigiriza.

RDC wa Kayunga era nga ye ssentebe w'akakiiko akalwanyisa COVID 19 e Kayunga yasabye abantu okubayambako mu kunoonya bonna abaaliko n'abalwadde era batwalibwe mu kalantiini wabula n'agumya abali mu kalantiini nti byonna ebibanyiga bijja kutereezebwa.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts