"OBUSOSOZE mu mupiira bujja kuggwaawo singa Abaddugavu bongera okuweebwa emirimu gy'obutendesi."
Bino byayogeddwa omuwuwuttanyi wa Bungereza ne Man City, Raheem Sterling ng'abuuziddwa ku kuttibwa kw'Omumerika Omuddugavu, George Floyd, okwaliwo nga May 25 mu ssaza ly'e Minneapolis mu Amerika. Floyd yattibwa omuserikale Omuzungu oluvannyuma lw'okumusimba evviivi mu bulago.
Sterling alumiriza nti obusosoze mu langi obuli mu Bungereza bufuuwa malenge n'ajuliza nti ne mu mupiira kikambwe nnyo. Yagambye nti kino okirabira ku butendesi, bassita Abazungu abawummula omupiira banguyirwa nnyo okufuna emirimu okusinga bassita Abaddugavu.
Yawadde ekyokulabirako kya Steven Gerrard ne ne Frank Lampard nti wadde baasambira ku mulembe gumu ne Sol Campbell ne Ashley Cole, bo (Gerrard ne Lampard) baayanguyirwa okufuna ttiimu ennene kyokka Campbell ne Ashley Cole, Abaddugavu bali mu njabayaba.
Gerrard atendeka Rangers eya Scotland ate Lampard ali mu Chelsea sso nga Cole atendeka ttiimu ya Chelsea eya akademi ate Campbell atendeka Southend ey'ekibinja ekyokusatu mu Bungereza.
BAWAGIDDE STERLING
Ebigambo bya Sterling, byegasse ku by'eyaliko emmunyeenye ya Bungereza ne Liverpool, John Barnes eyagamba nti, "Abatendesi Abazungu bawulirizibwa nnyo era babawa balina enkizo ku mirimu okusinga Abaddugavu."
Dwight Yorke, eyaliko ssita wa ManU naye alumiriza nti akyabuliddwa omulimu gw'obutendesi lwa kubeera Muddugavu.
"Nnoonyezza kiraabu empa omulimu n'embula wadde nga Sir Alex Ferguson y'omu ku basembi bange," Yorke eyali omuteebi kayingo mu ManU eyawangula ebikopo ebisatu mu 1998-99 bwe yategeezezza.
Yanokoddeyo Aston Villa nti yaakasaba obutendesi bwayo enfunda bbiri, ne Fergie n'agattako okukubira abakungu baayo essimu kyokka temubayitanga wadde ku be bakozesa yintaviyu.
"Omukungu omu yang'amba nti sirina bumanyirivu bwa butendesi kati olwo nnaabuggya wa nga siweebwa mukisa gwonna?" Yorke bwe yabuuzizza mu busungu.
OMUDDUGAVU ALI OMU
Ku kiraabu 20 eza Premier, emu yokka (Wolves) y'etendekebwa Omudugavu ng'ono ye Nuno Espirito Santo enzaalwa ya Portugal sso nga mu bibinja ebirala ebya Bungereza waliyo Keith Curle (Northampton), Dino Maamria (Stevenage) ne Sol Campbell (Macclesfield).
Sterling, 25 agamba okwekalakaasa tekujja kumalawo mbeera eno nti kuba obusosoze Abazungu kirabika baayonka kuyonke. Yagambye nti obusosoze bwa bulabe okusinga ne corona.