Monday, June 15, 2020

Bad Black atabukidde Gavumenti: Ayagala bamusasule obukadde 500 ez'akalango

Bad Black atabukidde Gavumenti: Ayagala bamusasule obukadde 500 ez'akalango






Bad Black obwedda ayogeza obukambwe agamba yakozesebwa okukola akalango akazannya ku mikutu gy'amawulire okulabula abantu naddala abakyala banneekolera gyange (bamalaaya) abali mu bitundu by'eggwanga eby'oku nsalo ku ssennyiga omukambwe ng'abakubiriza okwewala abavuzi ba bituleera n'ebimmotoka by'amaguzi kubanga be basinze okuzuulibwamu obulwadde buno.

\Wabula Black gwe twayogedde naye ku ssimu agamba nti wadde akalango yakakola era kazannya ku mikutu gy'amawulire, tasasulwanga wadde okutuukiriza ebyo bye baamusuubiza omuli n'okusisinkana Pulezidenti Museveni boogere ku ssente z'ayagala amuwe mu mulimu guno, ssaako okumuwa emmere y'okugabira abakyala banneekolera gyange b'alwanirira. Agamba nti emmere tebagimuwanga kyokka abakyala bagimusaba.

Black agamba nti Tendo Ronex Kisembo owa Precision Media Ltd ye yamutuukirira ku lwa minisitule y'ebyobulamu n'amusomera ddiiru eno era n'amuggyako n'akalango kyokka okuva olwo emirundi gy'agezezzaako okumutuukirira wamu n'abakungu mu minisitule y'ebyobulamu ng'abasaba bamusasule bonna beesuuliddeyo gwa nnaggamba.

Ng'ayita mu munnamateeka we, Robert Rutaro Muhairwe owa Musangala Advocates & Solicitors, mu bbaluwa gy'awandiikidde ssaabawolereza wa Gavumenti ne Tendo Ronex Kisembo, Black ayagala bamusasule obukadde 500 nga za mulimu gwe yakola era nti gutambudde bulungi kubanga ali ku buli mukutu gw'amawulire ate nga n'abakyala b'ayogerako basobodde okwewala abavuzi ba ttuleera. Ayagala ssente endala obukadde 50 zimuliyirirwe olw'ebyo by'ayiseemu n'okufi irizibwa (damages) kubanga abantu bamanyi yafuna ssente nnyingi era abamubanja n'abalala basiiba bamusaba ssente.

Bano abawadde ennaku 14 okuddamu ebbaluwa eno oba si kkyo waakweyongerayo mu kkooti. Kyokka Kisembo awakanyizza ebyogerwa Bad Black.

Agamba nti mu kumutuukirira okukola akalango kano talina ssente ze yamusuubiza wabula yamulabira mu kiti ky'omuntu asobola okwogerera abakyala banneekolera gyange ate nga bamuwuliriramu n'amusaba okukola akalango kano nga ettoffaali ly'ayinza okuteeka mu lutalo lw'okulwanyisa ekirwadde kino ekitadde ensi yonna ku bunkenke okufaananako ne bassereebu ssaako abantu abalala abavuddeyo mu lutalo luno.

Mu kalango kano akazannya ku mikutu gy'amawulire agy'enjawulo, Bad Black abuulirira abakyala banneekolera gyange naddala abo ababeera mu bitundu by'eggwanga eby'oku nsalo n'ebiriraanyeewo okwewala abavuzi ba bituleera n'ebimotoka by'amaguzi abava mu mawanga amalala abagambibwa okuba nga be basinga okusaasaanya Corona.

SHANITAH Namuyimbwa amanyiddwa
nga Bad Black atabuse lwa
ssente za COVID-19. Ayagala gavumenti
emusasule obukadde 550
ez'akalango ke yakola ng'alabula
abantu ku ssennyiga ono omukambwe,
nti bwe bagaana
agenda mu kkooti.
Bad Black obwedda ayogeza
obukambwe agamba
yakozesebwa okukola
akalango akazannya ku
mikutu gy'amawulire
okulabula abantu naddala
abakyala banneekolera
gyange (bamalaaya)
abali mu bitundu
by'eggwanga
eby'oku nsalo
ku ssennyiga
omukambwe
ng'abakubiriza
okwewala abavuzi
ba bituleera n'ebimmotoka
by'amaguzi kubanga be basinze
okuzuulibwamu obulwadde buno.
Wabula Black gwe twayogedde
naye ku ssimu agamba nti wadde
akalango yakakola era kazannya
ku mikutu gy'amawulire, tasasulwanga
wadde okutuukiriza
ebyo bye baamusuubiza omuli
n'okusisinkana Pulezidenti Museveni
boogere ku ssente z'ayagala
amuwe mu mulimu guno, ssaako
okumuwa emmere y'okugabira
abakyala banneekolera gyange
b'alwanirira. Agamba nti emmere
tebagimuwanga kyokka abakyala
bagimusaba.
Black agamba nti Tendo Ronex
Kisembo owa Precision Media Ltd
ye yamutuukirira ku lwa minisitule
y'ebyobulamu n'amusomera ddiiru
eno era n'amuggyako n'akalango
kyokka okuva olwo emirundi
gy'agezezzaako okumutuukirira
wamu n'abakungu mu minisitule
y'ebyobulamu ng'abasaba
bamusasule bonna beesuuliddeyo
gwa nnaggamba.
Ng'ayita mu munnamateeka
we, Robert Rutaro Muhairwe owa
Musangala Advocates & Solicitors,
mu bbaluwa gy'awandiikidde
ssaabawolereza wa Gavumenti
ne Tendo Ronex Kisembo, Black
ayagala bamusasule obukadde
500 nga za mulimu gwe yakola era
nti gutambudde bulungi kubanga
ali ku buli mukutu gw'amawulire
ate nga n'abakyala b'ayogerako
basobodde okwewala abavuzi ba
ttuleera.
Ayagala ssente endala obukadde
50 zimuliyirirwe olw'ebyo
by'ayiseemu n'okufi irizibwa
(damages) kubanga abantu
bamanyi yafuna ssente nnyingi
era abamubanja n'abalala basiiba
bamusaba ssente.
Bano abawadde ennaku 14
okuddamu ebbaluwa eno oba
si kkyo waakweyongerayo mu
kkooti.
Kyokka Kisembo awakanyizza
ebyogerwa Bad Black. Agamba nti
mu kumutuukirira okukola akalango
kano talina ssente ze yamusuubiza
wabula yamulabira mu kiti
ky'omuntu asobola okwogerera
abakyala banneekolera gyange ate
nga bamuwuliriramu n'amusaba
okukola akalango kano nga ettoffaali
ly'ayinza okuteeka mu lutalo
lw'okulwanyisa ekirwadde kino
ekitadde ensi yonna ku bunkenke
okufaananako ne bassereebu
ssaako abantu abalala abavuddeyo
mu lutalo luno.
Mu kalango kano akazannya
ku mikutu gy'amawulire
agy'enjawulo, Bad Black abuulirira
abakyala banneekolera gyange
naddala abo ababeera mu
bitundu by'eggwanga eby'oku
nsalo n'ebiriraanyeewo okwewala
abavuzi ba bituleera n'ebimotoka
by'amaguzi abava mu mawanga
amalala abagambibwa okuba nga
be basinga okusaasaanya Corona.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts