Mu kiseera kye kimu, baagala ne Nanganga eyali amanyiddwa nga kitaawe wa Kafeero naye aziikulweyo kubanga kigambibwa nti naye yamwegaana enfunda bbiri ne kitegeeza nti abeeyita baganda ba Kafeero nabo tebalina buyinza buyingira mu nsonga zino kubanga kitaabwe si y'omu.
Okulumba Ssenkubuge kiddiridde (Ssenkubuge) okulumiriza Bisirikirwa nti tayagala Kafeero aziikulwe kubanga obuzaale bw'abaana obutuufu bujja kulabika ekitegeeza nti abaatunda ebintu bya Kafeero baba bajja kuliwa ssente ze baabitundamu abaana bonna bazigabane nga bategeerekese.
Ssenkubuge agamba nti abaana abana abaatunda ebintu bya Kafeero omuli ennyumba y'e Kajjansi, baakikola mu bukyamu kubanga bannaabwe abalala 11 tebaakimanya era tebaafuna ku mugabo ng'abaatunda bagamba nti abalala si baaluganda lwabwe era n'okukebera omusaayi kwababoola.
Awagira okuziikula Kafeero kiyambeko okuzuula obutuufu bw'abaana bonna bafune ku bintu bya kitaabwe kyenkanyi awatali kugamba nti omusaayi ogwakoleddwaako nga bakebera abaana si mutuufu nga bwe beekwasa mu kukebera okwasooka.
Bisirikirwa tayagala kuziikula Kafeero ng'agamba nti abamu ku baana ba Umar Nanganga (taata wa Kafeero) baagala kukola byawongo ku mulambo.
Ye ayagala bakebere baganda ba Kafeero okuli Joseph Mugerwa ne Nantongo abamufaanana ennyo be baba baggyako omusaayi gwe baba bakozesa kyokka abooluganda bonna ekyo bakiwakanya.
Ssenkubuge ku bye yayogedde yagasseeko okugenda ku mukutu gwe ogwa facebook kwe yatadde ebintu ebiraga nti abatayagala Kafeero kuziikulwa be bamu ku babba ebintu bye era baagala kubuza bujulizi kuba omusaayi bwe gumanyika enkaayana ne ziggwaawo ekiddako kuzuula ani yatunda n'eyagula okuzzaayo ebintu by'abaana.
Kino Bisirikirwa yakitutte nti Ssenkubuge yabadde ategeeza ye kwe kumwambalira. Kyokka Bisirikirwa agamba nti bwe biwanvuwa nga baganda ba Kafeero balemeddeko nti Nanganga y'azaala Kafeero, nabo kijja kubeetaagisa okuleeta obujulizi obw'amaanyi obukakasa ensonga eno.
Eggulo baganda ba Kafeero baatudde ne basalawo okutwala Bisirikirwa mu kkooti aleete obukakafu nti taata waabwe, ssaalongo Umar Nanganga si y'azaala Kafeero nga bwe yayogedde.
Mutabani wa Nanganga ayitibwa Abubaker Nende nga ye yagenda mu kkooti eyabawa olukusa okuziikula Kafeero yategeezezza Bukedde nti bwe kiba kyetaagisizza ne Nanganga okuziikulwa bakakase oba y'azaala Kafeero, kikolebwe.
BANAMWANDU ABALALA BABIYINGIDDEMU
Omusawo w'e Mulago, Babirye eyalaga essuuti ya Kafeero eyaakawemba ng'obujulizi nti yali mukazi we ne bannamwandu abalala abazaala abaana 11 baganda baabwe abana be beegaana mu kusooka, baagala Kafeero aziikulwe basalewo eggoye.
Wiiki eno, omu ku bakuza b'abaana ba Kafeero era eyali muyimbi munne mukwano gwe Mesach Ssemakula ne banne okuli Benon Kibuuka n'abalala bategese olukiiko okutema empenda obutaziikula Kafeero kyokka ate baleke abaana nga bakkaanya.
Kyokka Ssenkubuge bwe yabuuziddwa ku bya ssente Bisirikirwa z'ayogerako yagambye nti mu mbeera ng'eno ng'ali ku ludda Bisirikirwa lw'atayagala, bingi ebiba bigenda okwogerwa ate bingi by'akyayogera kyokka tekimukyusisa ndowooza ku kya kuziikula Kafeero abaana bafune ekika.