Saturday, June 20, 2020

Buchaman bamukubye n'atwalibwa mu ddwaaliro nga biwalattaka

Buchaman bamukubye n'atwalibwa mu ddwaaliro nga biwalattaka







Buchaman gwe twasanze mu ddwaaliro lya Malcom e Kibuye ku kitanda, alumiriza RCC wa Kampala Faridah Mayanja Mpiima okulagira abeby'okwerinda b'agamba nti baamukubye bwe yabadde agenze okulwanirira ab'omu Ghetto z'e Lugala, Masanafu ne Kosovo mu munisipali y'e Lubaga abaagobwa mu kifo ky'olutobazi mwe bazimba.

Buchaman agamba nti abantu abaagobwa mu kifo kino baamutuukirira abayambe kubanga tebalina waakulaga naddala mu mbeera eno eya coronavirus era naye olwawuulidde nti waliwo olukiiko olutudde ku nsonga y'emu yasazeewo agende mu kitundu kino alabe ekigenda mu maaso.

Agamba yabadde yaakatuuka ne wabaawo ekibinja ky'abavubuka akyazze nga kireekanira wakuggulu bwe bawakanya eky'okubago kyokka RCC n'ab'eby'okwerinda abalala balowoozezza nti y'abakunze era wakati mu kavuvvung'ano balagidde akawatibwe.

Ono abasirikale baamukutte nga mubbi wa kasimu ne bamukuba ku kabangali ya poliisi wakati mu kumusikasika n'okumukuba era mu kavvuyo kano bamuyulizza n'engoye.

Bino byabaddewo ku Lwokuna era Buchaman yatwaliddwa ku poliisi y'e Nateete gye yaggaliddwa ne banne okumala akabanga kyokka oluvannyuma yayimbuddwa ku kakalu ka poliisi.

RCC ayogedde

Bwe yatuukiriddwa ku ssimu, muky. Mayanja yategezezza nga Buchaman bwe yakwatiddwa okukkakkanya embeera y'abavubuka be yabadde aduumira okulemesa enteekateeka y'okugoba abantu abeesenza mu lutobazi mu bukyamu era n'awakanya eky'okumukuba.

Ono yannyonnyodde nti abantu b'e Busega baludde nga beemulugunya ku bantu abasenga mu lutobazi oluli mu kitundu kino era nga bagamba bakozi ba ffujjo, balina ebissi n'okunywa enjaga ne basaba babayambe okubaggyawo kubanga ne mu kitundu mwe basula baasengawo mu bukyamu.

Agamba bano baamuwandiikira era naye n'awandiikira ab'ebitongole ebirala be kikwakato omuli KCCA, NEMA kwe kuyita olukiiko kyokka babadde baakatuuka mu kifo kino abavubuka ababadde n'amajambiya n'ebisi ebirala ne babalumba nga bagamba nti bagaala kukola lutalo.

Yasabye Buchaman abakomeko kye yagaanye kwe kumukwata.

 

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts