Yakwatiddwa poliisi ya Lubigi e Nansana ku ssaawa 11:50 bweyabadde atambulira ku ddigi ennene wabula ng'ayisizza mubudde obwaalagirwa aba bbooda okuvugirako mukiseera ng'eggwanga liri mu muggalo olwa corona.
Abaserikale b'oku nguudo baamuyimirizza wabula n'agaana ne basalawo okumusika ku ddigi gye yabaddeko era wano weyatandikidde okukasukira abaserikale eng'uumi okukkakkana ng'ayuzizza yunifoomu y'omu ku baserikale.
Ono baamulizze jjeeke ne bamusaza ekkubo okutuukira ddala mu kaduukulu ka poliisi wabula ng'ono yagenze abalwanyisa era nga ne bwe yatuuse mu kkomera yatandise okukuba ebisenge by'akaduukulu ebikonde.
Oluvannyuma lw'okumuyingiza akaduukulu yategeezezza nti yabadde ava kumusasula ssente ku kitebe kya ttiimu yaabwe ekintu ekyatabudde abaserikale olw'ensonga nti yabadde ava Nansana ate nga ofiisi zisangibwa mu kibuga.
Nsubuga yayongeddeko nti yabadde agenda Namugoona gy'asula wabula ate omu ku booluganda lwe eyazze ku poliisi okumununula yategeezezza nti ono yabadde ava Nansana gy'apangisa ng'agenda Namugongo ewa kitaawe.
Sitatimenti zino zaabuzabuzizza abaserikale ne basalawo okusuza Nsubuga mu kaduukulu olw'okwogera ebigambo ebitakwatagana.
Poliisi yamuggyeeko sitatimenti era n'attottola ku ngeri gye yakwatiddwa n'engeri gye yalwanyisizza abaserikale.
Poliisi yamugguddeko omusango gw'okutuusa ku muserikale obulabe ku fayiro nnamba SD REF 10/19/06/2020 wakati mu kwongera okumunoonyerezaako ku bikolwa bye bye yakoze.
Oluvannyuma lw'abooluganda lwe okugenda ku poliisi ya Lubigi, Nsubuga yakakiddwa okuwandiika ebbaluwa eyeetonda eri omuserikale gwe yayulizza yunifoomu oluvannyuma n'ateebwa ku kakalu ka poliisi nga bwe bakyakola okunoonyereza.