Wednesday, June 10, 2020

Ebigambo bya Kasirye Ggwanga by'otayinza kwerabira

Ebigambo bya Kasirye Ggwanga by'otayinza kwerabira

MUNNAMAGYE Kasirye Ggwanga awummudde obulamu bw'ensi ng'ayogedde ebigambo bingi ebizimba n'ebiraga ekifaananyi ekituufu obulamu mwe bwandibadde butambulira. Tubikung'aanyizza nga bwe tubirambise wammanga:

Nze ndi munnamagye ow'enjawulo eyafuna nnamba y'amagye mu Uganda Army 17341 n'eno eya UPDF. Genda e Geneva obuuze bajja kukubuulira ebinkwatako.

BWE YALI AYOGERA KU BAZIRA:

Nze nnazaalibwa mu famire njavu era tuli bakopi, naye waliwo kojjange yagenda mu ssematalo n'alwana yajja n'ennyota ze. Oyo kojja nawummulirangayo ng'alina emmundu eyigga nga nze ngisitula era yanjigiriza okugikuba nga nnina emyaka 12 ne nkuba enkofu eyasooka.

Omuzira mu Uganda eya leero ye muntu akola ebyamagezi, akola emisubbaawa ng'asinziira mu nju ye bw'abeera tayingiriddwa ba URA alanda. Kati omwana awezezza emyaka 18 salawo ky'oyagala okikole okituukirize kubanga buli muntu muzira mu ngeri ye.

 Abaserikale ba poliisi be mulaba wano mu kibuga bazannya buzannyi, osanga abaserikale eyo mu kyalo nga poliisi babeerako babiri ennyumba bagipangisa naye tebasasula kyokka nnannyiyo atya okubaggyamu kubanga balina emmundu naye nga batambulira mu kuswala, endya mbi abantu be babayamba ne babaleetera ku kamere kubanga be babakuuma. Abo bazira kubanga bawaddeyo obulamu bwabwe.

Nga tukuza olunaku lw'abazira tutunuulire embeera gyetulimu, toyinza kuva mu kujaguza lunaku lw'abazira ne weebaka ng'enjala ekuluma. Ng'abaana bo obalaba balidde kimu ate tebakkuse, mulabe omutindo gwetuliko ebyo eby'okunenya biveewo.

NG'AYOGERA KU MWOYO GW'EGGWANGA

 Nze sibeerangako mwoyogwaggwanga ebyo bya ba Museveni, tewali mwoyogwaggwanga wano abantu babba ssente z'eggwanga bbiriyoni, tobakwata ng'ogamba nti oyagala eggwanga. Buli muntu wano ayagala kufuna kwekkusa, nze nga Kasirye siri mwoyogwaggwanga naye njagala eggwanga lyange.

Bw'ogamba nti ozze kulumba Uganda awo nfa naawe, nze saagenda mu nsiko kubanga ndi mwoyogwaggwanga wabula baamala kutta muganda wange James Kasirye. Baamuttira Makindye ne mbategeeza nti musse muganda wange naye nange mbayigga.

 Nze saagenda mu nsiko kulwanirira Uganda, nga nnwanirira ntya Uganda eyali ensibye olw'obwereere kubanga nnali mujaasi wa Amin. Baagenda okukuba obululu bwa 1980 baatuleka mu mitayimbwa ng'emmere batuwa omulundi gumu ffe twali twakyawa Uganda twali bato nga tetulina kyetumanyi.

 Twali ku ssomero e Namukozi nga tusimbye ennyiriri omusota ne gujja, abayizi bonna n'abasomesa ne babuna emiwabo. Nze nnabuuka omulundi gumu ne ngukwata akawuuwo ne nguwuuba okutuusa nga ndaba guwunze, twali tetwambala ngatto naye ng'ekisinziiro kyange kiringa ejjinja ne nguteeka wansi ne ngulinnya ne mbayita nti mujje ngusse. Buli eyasomera e Namukozi mu myaka gyaffe akimanyi.

NG'AYOGERA KU MUSEVENI:

Museveni nze nja kumuwagira naye nze ng'amumanyi n'engeri gy'akolamu emirimu n'engeri gy'awaamu abantu ofiisi ndaba abantu bamuyiye, ababaga amateeka mu palamenti temulina mateeka ge muteeka kubanga ne gemukola ate mugenda wali katwe wemugamenyera, nsaba temutya bakulembeze mulondoole pulojekiti za gavumenti mulondoole ne ssente ezidda ku disitulikiti.

OBULAMUBWE

 Nze sinywera mu bbaala ngula akantu kange nga nkatwala waka nga nnywa, saagala bantu njagala mbeeyawuleko kubanga simanyi bwe beeyisa saagala kubeesembereza

Olumu bwe yali ayogera kw'emu ku mbwa ze eyitibwa Bo, yagamba nti emusingira abantu kubanga yo teyeefuula naye abantu bamwefuulira. Wabula yennyamira nti waliwo omusawo eyagijjanjaba n'agikuba eddagala erisukka ku ly'ekigero n'efa.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts