Wednesday, June 10, 2020

Ebiri mu lipoota ku nfa ya Kasirye Ggwanga

Ebiri mu lipoota ku nfa ya Kasirye Ggwanga






Ddereeva yagezezzaako okumuyita nti, "Afande, Afande…" ng'ayagala amugumye nti ensi ekyamwetaaga nnyo, wabula nga tekyali kanyego! Ddereeva we Yasin Kafuuma yakitegedde luvannyuma nti Kasirye yabadde azibye omumwa.

Kafuuma yatandise okweraliikirira ennyo kubanga Kasirye yabadde akoze n'obubonero obulala obulaga nti yabadde asiibula. Akabonero akaasoose kaabadde ka kutumya mbwa ye ne bagimuleetera mu ddwaaliro e Nakasero.

Kasirye nti yeewalirizza n'akwata embwa mu mutwe n'agigamba nti, "Animal, ndi wano sikyasobola kukulabirira; genda otandike obulamu obupya." Embwa eno gye yali yazza mu bigere by'eyo gye yasooka okubeera nayo nga yagituuma Boo, kyokka n'efa oluvannyuma lw'omusawo okugikuba eddagala erisukkiridde.

"Animal" nayo olwagisiibudde n'ekwata ekkubo n'egenda era Kafuuma yagambye nti embwa nayo eringa eyategedde nti mukama waayo yabadde agenda kufa.

Kasirye Ggwanga yatwalibwa mu ddwaaliro e Nakasero nga May 18, 2020 era mu wiiki eyo mwe eyasoose ng'ali ku kitanda mwe yasiibulidde embwa era oluvannyuma n'ategeeza Kafuuma nti entalo z'alwanye azirwanye era akaseera ak'okuwummula katuuse.

Wiiki eyazzeeko, embeera mwe yasajjukidde era nga May 25, 2020 n'atwalibwa mu kasenge k'abayi ennyo "Intensive Care Unit". We baamutwalidde mu kasenge ako ng'omumwa gumaze okuziba era n'ateekebwa ku byuma ebiyambako mu kussa.

Wiiki ewedde baabadde bafunyeemu essuubi ng'omulwadde yeenyeenyezzamu katono, wabula Kafuuma yagambye nti alabika olwo yabadde abasiibula kyokka ne batakitegeera. Kafuuma abadde ddereeva wa Kasirye okumala emyaka mukaaga era ne mu ddwaaliro y'amubadde ku lusegere.

LIPOOTA KU NFA YA KASIRYE GGWANGA

Lipoota y'abasawo e Nakasero eraga nti Kasirye Ggwanga 68, yassizza omukka ogw'enkomerero ku ssaawa 11:30 nga bukya eggulo ku Lwokubiri. Yabadde yaakamala mu ddwaaliro ennaku 22 ng'ajjanjabwa endwadde ezimaze ekiseera nga zimutawaanya.

Obulwadde bw'amawuggwe bwe bwamuviiriddeko okufa, kyokka bwegattiddwaako ebizibu ebirala okuli n'eky'omusuwa gw'oku mutwe okwetugga omusaayi ne gwekwata akatole (Blood clot) era kano ke baasooka okulongoosa, kyokka embeera n'eyongera okubeera embi nga kiva ku mawuggwe.

Mu kulambulula ebikwata ku nfa ya Kasirye Ggwanga, aba ffamire nga beesigama ku byabauuliddwa abasawo abeekebezze omulambo baategeezezza nti abasawo baakizudde nti amawuggwe gaabadde gaanafuwa nnyo.

Mu 2016, Ggwanga yatwalibwa mu ddwaliro e Nakasero ng'embeera ye mbi oluvannyuma lw'okulumbibwa obulwadde era baagenda okumukebera ng'amawuggwe ge malwadde nnyo ne bamusindika mu ddwaaliro lya Kampala International Hospital.

Kigambibwa nti bwe baamusiibula, abasawo baamulagira okuva ku mwenge ne ssigala era aba ffamire babadde bafuba nnyo okumwegayirira abiveeko naye nga ssi kyangu.

Mu April w'omwaka guno baamujjanjabirako mu ddwaaliro lya boofiisa b'amagye e Mbuya wabula yamalayo olunaku lumu n'asiibulwa ng'embeera eteredde.

Kyokka embeera yaddamu okutabuka nga waakayita omwezi gumu era ddereeva we kwe kumuvuga n'amutwala mu ddwaaliro e Nakasero gye yafiiridde.

BAMUYISE MUZIRA EYAFUDDE KU LUNAKU LW'ABAZIRA

Abantu ab'enjawulo omwabadde n'abakungu b'amagye bangi baatuseeko ku ddwaaliro, kyokka bangi baabakomezza bweru.

Embeera yabadde ya kiyongobero ku ddwaaliro naddala ng'emmotoka za UPDF zifulumya omulambo okugwongerayo. Abooluganda abamu baatemye emiranga olw'okufiirwa omuntu owoomugaso.

Lt. Col Deo Akiiki amyuka omwogezi w'eggye lya UPDF yagambye nti omulambo baagututte mu nkambi e Bombo bongere okugwekebejja.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts