Kuno agasseeko okwewaana "kati nninda tuve mu muggalo mbalage waaka omupya."
Mwanamuwala ono yasiimiddwa ab'omukutu gwa Youtube oluvannyuma lw'okuweeza abagobereezi emitwalo 10 ku mukutu guno ne bamuwa omudaali gwa siriva (YOUTUBE Silver).
Spice kati yeegasse ku bayimbi abalala okuli; Jose Chameleone ne Rema abaaweebwa omudaali gwe gumu gye buvuddeko kyokka nga Kenzo eyasiimiddwa ab'omukutu gwe gumu omwezi oguwedde y'akyabasinze kubanga ye yafunye gwa zaabu oluvannyuma lw'okuweeza abagobereezi akakadde kamu.
Spice mu kwogerako ne Bukedde yagambye nti omudaali guno kabonero akalaga nti abantu basiima by'akola era kino kimuwadde embavu okwongeramu amaanyi mu by'akola.
Okumanya Spice omudaali guno gwamucamudde nnyo, bakira aweereza abawagizi be obubaka obw'okumukumu ng'essappe ng'oyinza okugamba liri mu 90 ng'enjogera y'ennaku zino bw'eri.
Mwanamuwala ono woosomera bino atambula agaziwa era ku wiikendi yalabiddwako ng'afunye ne kanyama amukuuma. Nkugambye!!! Abantu obwedda abamulaba ne kanyama ono nga beebuuza kimu; 'yamufunye kukuuma ngule gy'atambula nayo ng'alaga mikwano gye oba akuuma ye ng'omuntu?
Bya mpuna......