Monday, June 8, 2020

Red Cross edduukiridde abaasengulwa amazzi mu bizinga e Buvuma

Red Cross edduukiridde abaasengulwa amazzi mu bizinga e Buvuma

 




Sam Mugisha eyakulembeddemu aba Red Cross abaatutte obuyambi bw'ebintu ebikozesebwa ewaka yagambye nti baatutte ebintu omuli amaseffuliya, essowaani, ebikopo, bulangiti, obutimba bw'ensiri, ebidomola, eddagala erirongoosa amazzi ag'okunywa ssaako ettala ezikozesa amaanyi g'enjumba.

Mugisha yagambye nti obuyambi buno bwatuuse ku bantu mu maka agasoba mu 600 okuva mu byalo eby'enjawulo ebisangibwa mu Buvuma Town Council, Busamuzi ne Buwooya ng'okugaba ebintu kwamaze ennaku bbiri ku Lwomukaaga ne Ssande.

Abaana ku mwalo e Kyanamu nga batwala ebintu bye baafunye okuva mu Red Cross.

Yategeezezza nti okuvaayo kyaddirira omubaka omukyala ow'e Buvuma mu palamenti Jennifer Nantume Egunyu okwekubira enduulu eri ekitongole kya Red Cross n'alaga obulumi n'obwetaavu abantu bwe bayitamu sso ng'ate n'amazzi n'ekirwadde kya COVID 19 nakyo kibatuuza bufoofofo.

Omubaka Nantume yannyonnyodde ku bugubi abantu bwe bayitamu mu kiseera kino kyokka nga ku bizinga 52 ebikola disitulikiti bagenda kuteeka obuyambi ku kizinga kimu kyokka.

Abatuuze nga balinze okubagabira ebintu ebyaweereddwayo aba Red Cross.

Yategeezezza nti obwetaavu bukyaliwo nga kyetaagisa gavumenti n'ebibiina by'obwannakyewa okwongera biveeyo bibadduukirire.

Abamu ku batuuze abaafunye obuyambi baalaze essanyu kyokka ne bagamba nga bwe babadde bayita mu mbeera embi ennyo ng'ate n'eky'okulya nakyo tebakirina

 

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts