BYA JOANITA NANGONZI
Okutuuka okusalawo bwati ensi yamala kumubijjirira nga balangiridde kkalantiini. Namutebi agamba\; "Obulamu bwange bwonna mbadde nkola gwa kutunda byamikono ku National Theatre mu Kampala okumala emyaka egisukka mu etaano.
Pulezidenti bwe yalangirira kkalantiini eyasibira abantu awaka nga tebakola, omulimu gwange gwafa nga ne gye mbeera e Bulenga teri bantu basobola kungulako.
ENGERI GYENAFUNAMU EKIROWOOZO EZ'OKULIMA ENYANNYA NENVA ENDIRWA.
Olumu nali nneebase mukwano gwange n'ankubira essimu era bwe yawulira nga njogera nga ali mu buliri kwe kumpa amagezi okutandika okulima ennyaanya mu kifo ky'okwebaaka.
Saasooka kukiteekako mwoyo wabula natandika okutereka obusigo bw'ennyaanya buli lwe nafumbanga okutuuka bwe zaaweera ne nzisimba.
Abantu abandaba nga nnimye ennyaanya bampa amagezi okulima enva endirwa ez'enjawulo.
Kati n nima ebijanjaalo ebiranda ,entula ,bbiringannya ,katulunguluccumu ,ddoodo ew'ebika ebisatu, nnakati sukuma wiiki ,ebbugga ,obutungulu n'ebirala.
NNIMIRA MU BINTU EBY"ENJAWULO
Olwokuba ebirime bingi ate nga we nnimira wafunda kuba ndi ku bugazi bwa 40 kwa 30 nnimira mu bintu eby'enjawulo.
Nimira mu bukutiya ,ebidomola, obucupa obw'amasanda ,obuveera ,obukebe n'ebirala bwe bityo.
Wadde nnaakandika okulima nfuna abantu abangulako enva naddala Nnakati ne sukumawiiki.
Ndi mumalirivu okutwala omulimu guno mu maaso ne bwe nnaaba nga nzizeemu okkukola.