Tuesday, July 7, 2020

Aba bboodabbooda mu kibuga Masaka bo bakola, tebali ku bya Covid19

Aba bboodabbooda mu kibuga Masaka bo bakola, tebali ku bya Covid19

ABAVUZI  ba bboodabbooda mu kibuga Masaka ekyakasajjakula okufuuka City balabika amatu baagateekamu ppamba ng'ebyobutatambuza bantu olw'amateeka g'okutangiramu ekirwadde kya  ssenyiga wa COVID 19 ssi bye baliko.

Bw'oyimirira mu nguudo z'ekibuga kino ez'enjawulo toyinza kusussa ddakiika ttaano nga tonnalabawo bbooda zisukka mu kkumi zikuyitako nga ziweese abantu.

Ate ssi kugamba nti zibeera zidda ludda lumu wabula mu nguudo zonna zibeera ziyising'anya ng'ezimu ziweseeko n'abasukka mw'omu.

Tugambe nti abaserikale ba tulafiki tebabalaba oba ebya Covid19 baabivaako?!

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts