Tuesday, July 7, 2020

Omuwanika wa Buganda Waggwa Nsibirwa ayogedde ku nteekateeka y'okumaliriza amasiro

Omuwanika wa Buganda Waggwa Nsibirwa ayogedde ku nteekateeka y'okumaliriza amasiro

OMUMYUKA ow'okubiri owa Katikkiro era Omuwanika wa Buganda,Robert Waggwa Nsibirwa bwe yabadde asoma embalirira yagambye nti omwaka gw'ebyensimbi guno bateekwa okugasereka amasiro

Yagambye nti Obwakabaka busuubirwa okumaliriza okuddabiriza embiri okuli olw'e Bamunanika n'e Nkoni wamu n'okutandika okusereka Amasiro g'e Kasubi.

Omulimu gw'okuddaabiriza Amasiro kweyongeddeko okuddamu ennyumba y'Abalongo eyakutte omuliro ku ntandikwa ya June era ensonda zategeezezza nti enkiiko zituula okulaba ng'omulimu gukolebwa.

Omuliro gwakwata ennyumba ya Muzibwazaalampanga nga March 16, 2010. Omugalamidde Bakabaka bana. Omuliro omulala guzze gukwata era mu June 2013 waliwo ennyumba endala eyakwata omuliro, ennyumba eno yazimbibwa kumpi mu kiseera kyekimu n'eno eyakutte omuliro.

Omulangira Jimmy Mawanda Kalemanjovu Kajumba ng'annyonnyola eby'asoba mu Masiro

Omulangira Jimmy Mawanda Kalemanjovu Kajumba, mutabani w'Omulangira Daudi mawanda Tembo muzzukulu wa David Alexander Simbwa muzzukulu wa Chwa agamba nti okuva 1998 ebintu webyatandikira okutabuka  nga baggyewo Nalinnya Ndagire muwala wa Onestro Jjuuko.

Agamba nti ennyumba zino okukwata Omuliro waliwo ebyasoba ebisaana okutereezebwa naddala ku busika bwa Kasubi bwe bamanyi nti bwatandika okuyuuga era kirabika nga buno bwe busobu obuvaako Omuliro.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts