Tuesday, July 14, 2020

Abakozi ba Imperial Royale Hotel baleppuka na gwa kufiiriza Gav't ssente

Abakozi ba Imperial Royale Hotel baleppuka na gwa kufiiriza Gav't ssente





Edison Nsubuga Kizito 27, Banquet ne Simon Ndoo 40, baasimbiddwa mu kkooti ewozesa abalyake n'abakenuzi e Kololo ne bavunaanibwa.

Abawawaabirwa baabadde mu maaso g'omulamuzi Pamela Lamunu Ochaya eyabasomedde emisango ebiri egy'okufiiriza gavumenti ssente ssaako emisango mukaaga egy'okujingirira ebiwandiiko. Emisango gyonna bagyegaana nti tebabimanyiiko.

Kigambibwa nti bano mu December 2018, baategeka era ne bakakasa minisitule y'ebyensimbi nga bwe baawa ebyokulya bya 470, 695,400/- eri abakungu b'ekitongole kya gavumenti ekya Kampala Central Division Gaming Regulations abaali bategese omusomo mu wooteeri eyo.

Oludda oluwaabi era lulimiriza nti bano mu March, 2019 mu wooteeri yeemu baakakasa minisitule y'ebyensimbi ne bawa 480, 040,480/- nga bagamba nti zaali za byakulya ebyakozesebwa abakungu mu kitongole kya Lotteries and Gaming Regulatory Authority kyokka nga byonna byali bya bulimba.

Baagenda mu maaso ne bawa minisitule ebiwandiiko ebinjigirire okubawa ssente 116,837,700/-, endala obukadde 117,333,300/- ssaako ssente endala 118,820,100/- nga byonna byali bya bulimba.

Omusango gwaweereddwa August 19, 2020 okutandika okuwulirwa.

ABAKOZI ba wooteeri ya Imperial
Royale bavunaaniddwa okujingirira
ebiwandiiko n'okufiiriza gavumenti
ya Uganda ssente eziri mu kawumbi.
Edison Nsubuga Kizito 27, Banquet
ne Simon Ndoo 40, baasimbiddwa
mu kkooti ewozesa abalyake
n'abakenuzi e Kololo ne bavunaanibwa.
Abawawaabirwa baabadde mu
maaso g'omulamuzi Pamela Lamunu
Ochaya eyabasomedde emisango
ebiri egy'okufiiriza gavumenti
ssente ssaako emisango mukaaga
egy'okujingirira ebiwandiiko.
Emisango gyonna bagyegaana nti
tebabimanyiiko.
Kigambibwa nti bano mu December
2018, baategeka era ne bakakasa
minisitule y'ebyensimbi nga bwe
baawa ebyokulya bya 470, 695,400/-
eri abakungu b'ekitongole kya gavumenti
ekya Kampala Central Division
Gaming Regulations abaali bategese
omusomo mu wooteeri eyo.
Oludda oluwaabi era lulimiriza nti
bano mu March, 2019 mu wooteeri
yeemu baakakasa minisitule
y'ebyensimbi ne bawa 480, 040,480/-
nga bagamba nti zaali za byakulya
ebyakozesebwa abakungu mu
kitongole kya Lotteries and Gaming
Regulatory Authority kyokka nga
byonna byali bya bulimba.
Baagenda mu maaso ne bawa
minisitule ebiwandiiko ebinjigirire
okubawa ssente 116,837,700/-, endala
obukadde 117,333,300/- ssaako
ssente endala 118,820,100/- nga
byonna byali bya bulimba.
Omusango gwaweereddwa August
19, 2020 okutandika okuwulirwa.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts