Ensonda mu kabineeti zaategeezezza Bukedde nti ensonga eno yatambulidde ku baminisita babiri; owa Kampala n'ow'ebyobusuubuzi Amelia Kyambadde.
Waabaddewo okwanjula ebyo ebikoleddwa bannannyini akeedi okukakasa nti beewala obulwadde bwa Corona singa akeedi ziba zigguddwaawo.
Oluvannyuma kyasaliddwaawo baminisita abakwatibwako ensonga eno okuli Amelia Kyambadde, owa Kampala Betty Amongi ne ttiimu y'abakugu okuva mu minisitule y'ebyobulamu nga bakulemberwa Dr. Monica Musenero baakusisinkana abakulembeze b'abasuubuzi ne bannannyini akeedi olwaleero okubategeeza ekiddako.
Kabineeti okuteesa ku kuggulawo akeedi kyawadde abasuubuzi essuubi kubanga baali basuubira ensonga eno mu kabineeti ya Mmande ewedde, wabula n'etateesebwako.
BANNANNYINI AKEEDI ABAMU BASONYIYE ABASUUBUZI EZ'OBUPANGISA
Omuwendo gwa bannannyini Akeedi abasonyiye abapangisa ssente za lenti gweyongedde.
Hamis Kiggundu amanyiddwa nga Ham ye nnannyini Ham Shopping Grounds e Nakivubo yategeezezza Bukedde nti abapangisa be bonna ku bizimbe bye abasonyiye emyezi ebiri. Bamaze emyezi ena nga tebasasula ssente za bupangisa. Kati ababanja emyezi ebiri.
"Nkimanyi tewali mupangisa yaleeta corona wadde gavumenti oba ffe bannannyini bizimbe. Ffena tulina okwekwatira awamu okulaba nga buli omu tanyigirizibwa", Ham bwe yategeezezza.
Yeegasse ku mugagga owa Aponye Moll okuliraana omuzigiti ku William Street ne Mega Standards eriraanye Ppaaka Enkadde eyasonyiwa abapangisa ssente za mwezi gumu. Omwogezi wa KACITA Isa Ssekito yagambye nti bakyamwegayirira abongereeyo n'omwezi omulala giwere ebiri.
Ate Alykhan Karmali amanyiddwa nga Mukwano ye yasooka okusonyiwa abapangisa be.
Bannanyini Nakivubo Trade Centre e Nabugano nga bayita mu kampuni erabirira ekizimbe ekyo eya Property Services LTD basonyiwa abapangisa be omwezi gumu.
Eggulo abagagga batandise okuggulawo akeedi nga bagamba nti akakiiko ka KCCA akateekebwawo okulambula akeedi zino okulaba oba zituukiriza ebisanyizo bya corona kaakakasizza nti balina ebisaanyizo byonna.
Ebisaanyizo kuliko okukendeeza obujjuzo mu akeedi, okubeera n'akuuma akapima ebbugumu, ebifo awanaabirwa engalo, obutakkiriza baamigugu kuyita mu bizimbe, okubeera ne kabuyonjo.
Ezimu ku akeedi ezaguddewo kuliko Jumbo Arcade, Capital Centre, City Plaza, Royal Complex, MM Plaza ne Namaganda, Naiga.
Abagagga okuli Godfrey Kirumira nnannyini Royal Complex, Christine Nabukeera (Nana), Mansoor Matovu Yanga(Kasiwukira, Nabukera) bagambye nti eky'okusonyiwa abapangisa ssente za lenti bajja kukikkaanyaako n'abapangisa baabwe kubanga balina entegeeragana eyeenjawulo.
Kyokka abakugu b'akakiiko akalambula akeedi baasobeddwa bwe baatuuse ku bizimbe ebimu mu Kampala ne bassanga nga bannyini byo beggulira dda.
Akeedi ze baasanze zaggulawo kuliko Nalubega Plaza ku Bombo Road. Abaalambudde baakulembeddwa Juliet Lubambula owa KCCA ne Edward Ntale omu ku bakulembeze b'ebibiina by'abasuubuzi.