Monday, July 20, 2020

Abasirikale ba LDU bazzeemu okutendekebwa

Abasirikale  ba LDU bazzeemu okutendekebwa

OMUMYUKA w'omuduumizi w'eggye ly'okuttaka Maj Gen Sam Kavuma atongoza kaweefube w'okuddamu okubangula abaserikale ba  LDU bonna mu ggwanga engeri gye balina okukolamu emirimu gyabwe.

Okutendekebwa kuno kutandise leero mu nkambi y'e kibinja ky'amaggye ekisooka e Kakiri era nga batandise n'ekibinja eky'ekKumi ekya  "Lubaga Battalion" ekibadde kikuuma Kampala n'emiriraano nga bagenda kumala wiiki bbiri nga batendekebwa.

Maj. Gen Sam Kavuma yatendereza omulimu omunene aba LDU gwe bakoze mu kibuga Kampala n'emiriraano emyezi omukaaka gye bakimazeemu nga bakuuma emirembe era bayambye nnyo okukendeza obubbi bw'e mmundu, okuwamba abantu , okutangira ababadde babazigu ababadde batiisatiisa abantu n'abamakolero nga baababulira ebibaluwa mu bitundu byabwe ekiza emabega ebyenfuna y'e ggwanga.

"Okumanya aba LDU bakoze omulimu gwa maanyi mu Kampala n'emiriraano,  mu myezi mukaaga gyokka emmundu ttaano zikwatiddwa, pisito 2 gattako  pisito enddala 4, eza kikanga baana, leediyo z'amagye eziwera gattako amasaasi agakozesebwa mu byokulwanyisa eby'enjawulo abazigu bye babadde bakozesa okutabangula emirembe mu Kampala n'emiriraano " Bwatyo Kavuma bweyategeezezza.

Yayongeddeko nti emmotoka enzibe nnya nazo zizuuliddwa , pikipiki 15, ebintu by'omu nnyumba eby'enjawulo ebyali byabibbwa nga mulimu ne bya offiisi nabyo byazuulibwa nga bakozesa obukugu bwabwe mu by'okukeeta nga batendekebwa.

Agambye nti aba LDU mu kiseera webagyira mu Kampala nga buli mu  kitundu abakulembeze ba LC's baali basaba okubasindikayo baabayambe okutaasa embeera era ekiseera kye bamazeeyo basobodde okwanukula omulanga gw'abantu.

 

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts