Monday, July 20, 2020

Atabuse ne mukazi we n'atta bbebi n'omusumeeni

Atabuse ne mukazi we n'atta bbebi n'omusumeeni






Nelson Bwambare omutuuze w'e Kabanyoro okumpi ne Gayaza mu disitulikiti y'e Wakiso yafunyemu obutakkaanya ne mukyala we Resty Nabweteme essungu n'alimalira ku mwana waabwe ow'omwaka ogumu.

Ettemu lino we lyabeereddewo eggulo ku Ssande ku ssaawa nga 3:00 ez'oku makya, Nabweteme yabadde agenze kubanja ssente mu bantu be yawola kasooli aviire Bwambare, kwe kusanga omwana ng'afuuwa musaayi.

Yagambye nti, babadde baalemagana ne Bwambare olw'enjaga n'enneeyisa ye era yabadde asazeewo okunoba kyokka bwe yagenze okubanja ssente afune ez'entambula emutuusa ewaabwe, yasanze omwana we asaliddwa obulago.

Kigambibwa nti, Bwambare yakozesezza musumeeni okusala obulago bw'omwana era olwamaze n'adduka. Bwambare yali akola gwa buzimbi wabula olw'embeera ya corona, abadde takyakola era Nabweteme yagambye nti, y'abadde ateteenkanya okufuna ffamire ky'enaalya. Yagasseeko nti, Bwambare abadde talina kintu ky'agula waka kyokka ng'asobola okufuna ezigula enjaga era abadde alina ebbiina ly'abavubuka b'abadde atambula nabo.

Bwe yatuuse ng'omwana asaliddwa obulago, yamututte ku kalwaliro k'oku kyalo ne bamumugobya ng'embeera mbi nnyo ne bamulagira amutwale e Mulago ng'eno, abasawo gye baakamutemedde nti, omwana yabadde afudde.

Nabweteme wakati mu kwaziirana olw'omwana we yagambye nti, Bwambare yamusendasenda n'amuggya ku mulimu gwe yali akola n'amupangisiza ennyumba e Kabanyoro ng'amusuubizza ebirungi ntoko wabula mu mwaka ogumu gw'amaze naye, nnaku nsa gy'amulabizza omuli n'okumuyombesa n'awatali nsonga.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano, Luke Owoyesigyire yagambye nti, Bwambale yakwatiddwa n'aggulwako omusango gw'obutemu ku ffayiro SD 03/19/07/2020 ng'okunoonyereza okuzuula ekyaviiriddeko Bwambare okukola ekikolwa kino bwe kugenda mu maaso.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts