Ekiseera we nabeerera minisita w'amakolero e Mengo, nali nakolagana nnyo n'ekitongole ky'obukolero obutono. Nayagala nnyo buli maka gabeereko ekintu eky'ettunzi kye geenyigiramu.
Ne leero, eno y'emu ku nkola ezigenda okutumbula ebyenfuna bya Buganda, kubanga abavubuka bangi badduse mu byalo ne bajja mu bibuga bavuga bboodabooda, tebakyayagala kulima.
Kyokka ne bbooda ze baddamu zirimu ebizibu byazo temukyali ssente, kale weetaagawo enkola y'okuyambako abavubuka okufuna emirimu emirala egibayamba okwebeezaawo.
Gavumenti y'e Mmengo erowooze ku ky'okufunira abavubuka emirimu ng'eteekawo amasomero g'ebyemikono ku buli muluka, nga babayigiriza okutunga, okuluka, okubajja, okulima, okufumba n'ebirala, kubanga bwe basoma amasomo gano bafuna emirimu egy'amangu ate nga miwangaazi.Kino kijja kuyambako okuba nga basobola okukola ebintu by'ettunzi ku bwabwe ne bwe baba nga bali mu maka gaabwe.
Eggwanga lya Buyindi likulidde ku nkola eno ey'obukolero obutono, buli maka galina bye gakola ebivaamu ssente, naffe wano e Buganda tukyetaaga nnyo bwe tuba twagala okulongoosa ebyenfuna kubanga bitandikira mu maka, ssinga amaka gaba geesobola n'eno waggulu wakula mangu.
Obuntu obutono bwe tukozesa mu bulamu obwa bulijjo nga; ebibiriiti, obuti bw'amannyo, obunzaali, amajaani, kaawa n'ebirala bingi, bwe tutandika okubyekolera nga tebiva bweru wa ggwanga, kijja kwongera okusitula ebyenfuna byaffe.
Ssinga buli maka mu Buganda gabaako ebintu bye gakola, oba buli muluka oba ggombola nga lirina ekintu ky'ettunzi kye likola, kijja kusitula ebyenfuna ate bwe bisituka mu maka n'ebyenfuna bya nnyaffe Buganda byonna biba bisituka.
Okugeza; tulaba obuntu obutono obusuubulwa ebweru nga; obuti bw'amannyo, ebibiriiti, sswiiti n'ebirala, ebyo ssinga tubyekolera, ezo ssente ziba zisigadde wano ne twewala okusaasaanya ennyo nga tuzza ebweru, wabula ate naffe tuba tusobola okutundako ebweru ne twongera ku nnyingiza yaffe.
Ebyobulimi nabyo tetusaanye kubisuula mu lutalo lw'ebyenfuna, okuva edda nga Buganda eyimiriddewo ku byabulimi, naye tusaana tuddeyo ku nkola ey'edda eyayambanga Buganda okuba ey'amaanyi.
Edda Buganda yalina enkola ennungi era ey'amaanyi ey'ebyobulimi. Wadde nga kati Mmengo efuba okukoowoola abantu okulima naddala emmwaanyi nga bayita ku mikutu gy'amawulire, naye ekyo tekimala, tusaanye tuddeyo tutunulemu mu nkola z'edda nga Buganda ekyali ya nkizo mu bulimi.
Gavumenti y'e Mmengo yasaliranga amasaza ttani z'emmwaanyi oba ppamba gwe balina okulima okusinziira ku bunene n'obugimu bw'ettaka mu ssaza eryo.
Bwe yamalanga okusalira amasaza, ng'enkiiko z'amasaza nazo zituula nga zisalira abaamagombolola , n'amagombola bwe gatyo nago nga gasalira abeemiruka ate n'abeemiruka nabo ne batuuka mu maka agali mu miruka gyabwe nabo ne babasalira. Essaza nga lirina okutuukiriza omutemwa gwalyo.
Enkola eno yayamba Buganda okubeera ku ntikko mu byobulimi ne mu byenfuna. Buganda era yalinanga abalimisa abaagendanga mu byalo ne basomesa abantu ku by'ennima ennungi, baabasimbisanga paasikalamu okukwata ettaka lireme okukulukuta.
Buli maka gaalinanga obuvunaanyizibwa okukola ennyo nga galina okubeera n'emisiri oba ennimiro ez'okulya n'okufunamu ssente, nga ppamba oba emmwaanyi.
Abaami ba Kabaka baalambulanga abantu okulaba nti kino bakituukiriza. Bino Mmengo by'esaana okuddamu okukola, okuteekawo omuwendo ogw'essalira ku birimibwa mu buli ssaza bwe tujja okudda ku ntikko.