Thursday, July 2, 2020

Bannanyini bizimbe balemeddeko bazzeemu okusisinkana minisita ne bamukwasa alipoota yaabwe

Bannanyini bizimbe balemeddeko bazzeemu okusisinkana minisita ne bamukwasa alipoota yaabwe

Bya Joseph Mutebi

AKAKIIKO kebassaawo okubaga ebinaagobererwa kisobozese okuggulawo akeedi z'omu Kampala kamalirizza lipooti eno ne kagikwasa baminisita okuli ow'ebyobusuubuzi n'owa Kampala ne babagumya nti bagenda kumatiza pulezidenti ku mmande basobole okubagulawo wiiki eggya.

Omugagga Ham ne banne nga bali mu meeting ne Minister Amelia Kyambadde

Akakiiko kano akaliko abagagga b'omu Kampala banannyini bizimnbe  abakulembeddwamu Hamis Kiggundu amanyikiddwa nga Ham gattako n'abakulira ebibiina bya basuubuzi leero basisinkanye minisita Amelia Ann Kyambadde ne minisita omubeezi owa Kampala Bena Namugwanya bonna ne bakanya ku biri mu lipooti eno.

Ensisinkano eno ebadde ku offiisi za Ssabaminita wa Uganda era Kyambadde yabakakkasiza nga bwagenda okukwasa Pulezidenti lipooti eno ku mmande mu kabinenti naye ng'alina esjuubi nti okusinziira ku biri mu lipooti byalabye bwebanabeera babitambuliddeko Pulezidenti wiiki eggya agenda ku ggulawo akeedi zabwe

Minister Amelia Kyambadde n'abamu ku bannanyini bizimbe olwaleero ku office ya Prime Minster

Wabula agambye nti ne bwebanaggulawo bo abakoleera mu akeedi bizinensi y'okusiiba enviiri gattako ne kanisa eziri ku akeedi zin obo tebagenda kusooka kuggulwawo okutuusa nga bamaze okwetegereza engeri ennungamu gye banatambuzamu emirimu gyabwe baleme kwesiiga Corona.

Agambye nti bwe bateeka bino okuli okunaaba mu ngalo, okugula obuuma obupima ebbugumu, okukenkeddeza omujjuzo mu akeedi  n'ebirara, pulezidenti tasobola kugaana kubaggulawo.

Ye Hamis Kiggundu ayogedde ku lwa bannannyini bizimbe ategeezezza minisita nti kisaana gavumenti okubeera ng'ebebuzaako nga bwe yakoze ku mulundi guno kubanga bo beetegefu okubeera nga bakolera wamu nayo.

Minister Amelia Kyambadde ng'annyonnyola bannanyini bizimbe

Ate minisita Namugwanya yasabye abasuubuzi okukkiriza bagoberere ebiteekeddwawo kubanga bwe banaabivaako gavumenti ejja kuggalawo akeedi zonna nga tetaliza.

Ye Dr Monica Musenero omuwabula wa pulezidenti ku byobulamu yagambye nti okugulawo akeedi kyangu era asuubira nti Pulezidenti agenda ku zigulawo naye abasuubuzi ne Bannayuganda yonna gye bali balina okuyiga bwe bambala masiiki zino kubanga zikola kinenne nnyo okuziyiza akawula ka Corona okusasaana

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts