Matia Lubega 18, ng'ono aliko ekikyamu ku mutwe, yabula ku nnyina Gertrude Namayanja nga 10/05/20, yabulira mu katale k'omu Ndeeba gye yali akolera ne nnyina, okuva olwo talabikanga.
Namayanja agamba; Lubega yava wenkolera mu Ndeeba mu katale n'atambula n'agenda nga ndowooza atambulabutambuzi nga bulijjo, naye okuva olwo taddanga, nakamda kulinda nga ssimulaba ne ntandika okunoonya nga ssiraba.
Nagendako ku poliisi zonna ezituli okumpi nga talabika ne nzigulawo fayiro y'okubula kwe ku poliisi mu Ndeeba, naye nabo n'okutuusa kati tebamulabanga, ntuuse buli wamu, ku poliisi ez'enjawulo naye omwana wange abuze.
Lubega aliko ekikyamu ku bwongo, naye okuva lwe yazaalibwa mbadde naye nga tabulangako, ekintiisizza nti oba waliwo ekikyamu ekyamutuukako, nsaba aba amulabyeko yenna amutwale Ku LC oba poliisi emuli okumpi oba ankubireko ku nnamba zange zino; 0701 915 880, 0784 387 578.