Wednesday, July 22, 2020

Ebikujjuko by'okutongoza Embalu bijjidde mu muggalo gwa Covid19 ogukugira abantu abangi okukung'aana

Ebikujjuko by'okutongoza Embalu bijjidde mu muggalo gwa Covid19 ogukugira abantu abangi okukung'aana

 Bya FAISAL KIZZA

Naye ku luno omukolo gw'Abagisu guno gutuukidde mu kiseera nga pulezidenti yawera enkung'aana olwa ssennyiga omukambwe ekintu Abagisu kye baasambazze nga bagamba nti omukolo guno gwa buwangwa era mukulu nnyo mu nnono z'Abagisu.

 E Manafa abaserikale ba poliisi baagezezzaako okutangira abantuabatandise okwetegekera emikolo gy'embalu, ku Mmande kyokka olw`obungi bw'abantu baayambalaganye n'abaserikale nga bwe bategeeza nti  omukolo gw'embalu balina okugukola nga bajjajja baabwe bwe baagukolanga.



Baabadde boolekera e Naburesi mu ggombolola y'e Bunabulasale mu district ya Manafa nakyo kifo kya byabuwangwa mu Bugisu gye basookera okutegeka abagenda okusalibwa mu kutongoza embalu ya bonna ebeera ku kiggwa kye mbalu e Mudodo mu district ye Mbale.

Ssinga teyali ssennyiga ebikujjuko by'embalu byandibadde byatandika dda kubanga bamala omwezi mulamba guno ogwa July nga babinuka era bakung'aana okuva e Bulambuli, Sironko, Namisindwa, Bududa, Manafa ne mu masaza g'e Kenya ku lusozi Masaba (Elgon).



Ku mukolo guno ogw'embalu abalenzi kwe bafuukira abasajja era tebabalibwa kuba basajja nga tebannakola mukolo guno.

Ttiayika Rogers nga y'ayogerera poliisi mu nsozi za Elgon yagambye nti bo nga poliisi beetegefu okwang'anga buli ekigezaako okumenya ebiragiro bya gavumenti.



Bye buvuddeko minisita w'ebyobuwangwa n'ennono Peace Mutuuzo bwe yali ayogera ku mbalu yagamba nti ejja kubeerawo naye mu ngeri ya ssaayaansi.

Ejja kutongozebwa nga August 2.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts