"Ekirowoozo kyasooka kujja nga kirooto, era bwe nazuukuka, nakubira mangu maama essimu nga mmubuulira kye ndowoozezza era naye teyali mubi n'ahhamba nti embeera gy'eraga teri amanyiiyo!" Brenda Nakalema attottola bwe yasalawo okutunda ebinyeebwa ebisekule ne mukene by'atembeeya mu maduuka.
Nakalema mukyala muyivu, alina diguli mu by'embeera z'abakozi, obwakitunzi, enkuza y'abaana n'obukugu obulala. Yaliko avunaanyizibwa mu byensimbi mu Kampala University, gye yava n'akola ku nsonga z'abakozi mu kitongole ky'obwannakyewa ekikola ku kutumbula obulimi bw'emmere n'emiti (Vi-Agro Forestry) ekirina ofiisi zaakyo e Muyenga. Kati akola mu kitongole kya Al-madinah Agency Ltd e Lubaga nga y'avunaanyizibwa ku nsonga z'abakozi.
Agamba nti okuba ng'abadde atuula mu ofiisi ng'akola emirimu emiyonjo tekyamulobedde kukyusa mangu okulaba ng'ensimbi entono z'abadde asigazzaawo (189,000/-) azizaaza.
"Olaba abantu kye basinga okwetaaga ky'otandika nakyo era olina okukireeta mu bungi" Sirina ssuubi lyonna lya kitongole kye mbadde nkokera kuggulwawo mu bwangu ate nga ne ssente ze nalina ndaba zigenderedde!
"Kalantiini we yatandikira nalinawo ku ssente era nalowooza nti zaali zisobola okumbeezaawo mu mwezi ogumu oba ebiri kyokka bwe nalaba ng'ensimbi zikendedde kwe kusalawo nnoonye ekyokukola. Ebirowoozo byanneesomba nga ndaba nnyini nnyumba agenda kummanja ez'obupangisa kwe kulowooza bwe nsobola okwerwanako.
Akawungeezi ako, nagenda e Kitebi mu katale okulaba oba nnyinza okufunayo ekifo. Nafuna ekifo okumpi ku dduuka lya maama kyokka nga simanyi kye nnina kukola.
Nneebuuza ku be nasangayo ne bahhamba nti ng'otandika olina kulaba abantu kye basinga okwetaaga ky'otandika nakyo nti era olina kukireeta mu bungi basobole okukiraba omulundi ogusooka. Kino kyampaliriza okuva e Kisigula ne nsenga ewa maama e Kabowa nga mbeerayo okuva ku Mmande okutuuka ku Lwomukaaga.
Nasookera mu kusuubula bbirihhanya era natandikira ku nsawo ya 120,000/-. Ebyembi abantu baali tebamanyi nti mu kifo mwe nali nti mubeeramu bbirih− hanya era tebaamugula mangu n'avunda n'ansala!
Maama yahhumya ne nziramu okusuubula omulala, wabula naye n'ansala ne nzirayo ewange. Nagula mukene n'ebinyeebwa ne mbisekula nga ndi ewange.
Ebirala nabisiika ne mbisiba mu buveera ne ngattako ne mukene. Bino nabitambuza ku maduuka, mu butale, mu maka g'abantu n'obudaala ne mbasuubuza.
Bwe nnadda mu katale eby'okutunda bbirihhanya ne mbyesonyiwa, ne nzira ku mukene n'ebinyeebwa. Kati nsunsula n'okusekula mukene ate nga kwe ntadde n'okusiika omulamba abantu gwe baliirawo era ndaba nga nja kumufunamu.
Kuno ngattako okusuubula n'okutunda obutungulu. Okusoomoozebwa kwe nsanze Emirimu gino mbadde sigikolangako era ntomera mitomere. Mu butale abantu buli kimu babala kibale.
Obutungulu bubalwa, bbirihhanya bamubala, ovakkedo, amenvu na buli kimu era ababikolamu batunuulira bunene ne bamanya essente ez'okubitunda nze kye nali simanyi era nfiiriddwa ssente lwa butamanya.
Abasuubuzi bwe balaba nga tobimanyi baagala nnyo okukudondola. Waliwo n'abasuubuzi abeefuula babbulooka abakusaba bakuyunge ku baggya ebyamaguzi mu byalo bano ensawo bw'eba ya 100,000/- bagikuweera ku 140,000/- n'ofiirwa.