Nga bwe waayingira mu mukutu gwange ogwa Instagram ne guno guyingirire'. Wano abantu baatandise okwogera obutonotono n'abamu okumuweereza obubaka nga bwe babuuza ogubadde ate abalala nti ate Hajji akukoze ki?
Waayise ennaku ntono Kim Swagga eyeeyita mwannyina wa Vivian naye n'avaayo ng'ayita ku mukutu gwe ogwa Facebook n'ateekako obubaka obugamba nti " nasalawo okusirika olw'empisa ze ne bwe yayagala okuntuusako obulabe naye Katonda alimusasula.
Nsonyiwa mwannyinaze okwanjula eri omusajja oyo era nja kusigala nga nnenyezebwa olwa buli kimu." Obubaka bwa Kim Swagga bwayongedde okutiisa abantu bakira abamu beebuuza ekigenda mu maaso wakati w'abantu bano.
Wabula ate abamu baasobeddwa n'okutabulwa olw'obubaka bwa Jalia obulala bwe yataddeko ate ng'awaana Mbuga n'atuuka n'okumwogerako ng'omuntu gw'ayagala ennyo amukkakkanya obulumi buli lw'abeera abuwulira.