Bannayuganda e South Africa bali mu kutya olw'omuwendo gwa bannaabwe abafa obulwadde bwa Corona ogweyongera buli olukya.
Bano bagamba nti okuva lwe baatandika okuggyawo kalantiini mu ggwanga lino, omuwendo gw'abakwatibwa obulwadde buno n'abafa gweyongedde nnyo omuli ne Bannayuganda nga n'akyasembyeyo ye Luke Junior Ssendawula amanyiddwa nga Junior Seven, omu ku bavubuka abasama ababadde bamanyiddwa okumansa ssente n'okulya obulamu buli lwe bayingirawo mu ggwanga. Junior azaalibwa e Kibuuzi- Kayunga mu Bugerere abadde abeera e Millivell mu Johannesburg ng'akola gwa kusuubula mmotoka.
Yafiiridde mu ddwaaliro lya Life Flora Hospital e Johannesburg ku Lwomukaaga oluvannyuma lw'okukwatibwa ekirwadde kya Corona Ono y'omu ku bavubuka abaali mu kibiina kya ‘Rich Gang' ekyali kikulemberwa omugenzi Ivan Ssemwanga, era Junior abadde muninkini w'omuyimbi Leilah Kayondo.
Jamil Miti munywanyi wa Junior bwe babadde bakolera mu kifo kye kimu, obwedda ayogeza ennaku, yagambye nti ye yabadde agenda okusooka Junior okufa kubanga obulwadde buno bwabakwata bombi. "Katonda wa maanyi okuba nti nze nkyali mulamu era kati nsobola okwogera.
Obulwadde bwatukwata wiiki ssatu eziyise era twasooka kulowooza nti musujja nga buli omu teyeewulira bulungi. Wabula oluvannyuma lw'okwegattako obubonero obulala omuli; ekifuba eky'amaanyi naye nga bw'okolola owulira obulago bukalu, ssennyiga ow'amaanyi n'okuyunguka amaziga byatuleetera okutandika okulowooza nti yandiba nga corona." Jamil agamba baatandika okwejjanjabisa n'eddagala ery'enjawulo omuli n'okunywa n'okulya ebibala ssaako eddagala ly'ekinnasi, wabula wiiki bbiri eziyise embeera ya Junior yeeyongera okutabuka nga takyasobola kussa bulungi kwe kumutwala mu ddwaaliro afune obujjanjabi obusingawo.
"Obuzibu nti olw'omuwendo gw'abalwadde abangi omuntu bw'aba nga tali bubi nnyo tebamuwa kitanda mu ddwaaliro era Junior okumukkiriza baamaze kulaba ng'embeera mbi kubanga okuva lwe yagenda mu ddwaaliro abadde assiza ku byuma era ku Lwomukaaga baatutegeezezza nti afudde."
Sarah Jamil, naye ng'abeera South Africa, agamba nti embeera ey'obunnyogovu gye balimu mu kiseera kino ebakosezza nnyo era mu bbanga lya mwezi gumu bafunye amawulire ga Bannayuganda abakunukkiriza mu 20 abaakafa ekirwadde kino mu bitundu by'eggwanga eby'enjawulo nga mu bano mwe muli ne Caroline Nantongo abadde amanyiddwa nga Hajjati omufumbi w'emmeere e Durban, Rose Kisame, omusawo, Banda n'abalala.
ABA FFAMIRE YA JUNIOR BASOBEDDWA
Samuel Bazibu, muto wa Junior gwe twayogedde naye ku ssimu yategeezezza nga bwe bakubiddwa omuggo olw'okuviibwako muganda waabwe abadde empagi mu ffamire, omuntu w'abantu era akutte bangi ku mukono n'okubayamba.
Bazibu eyakakasizza Junior okufa corona agamba nti mu kiseera kino basobeddwa kubanga bandyagadde omuntu waabwe akomezebwewo kyokka tekisoboka era batudde nga ffamire ne basaba mikwano gye ne mukyala we ali e South Africa bakkirize aziikibwe mu limbo.
Ono agamba nti wabaddewo abateesa nti ayokebwe baweereze kuno evvu wabula abaffamire kino bakigaanyi ne basemba eky'okumuziika tomanya mu maaso eyo bwe kiriba kisobose basobola okumuziikula ne bamuzza. Junior alese abaana bataano okuli abana abali mu Uganda n'omu ali e South Africa. Asuubirwa okuziikibwa amangu ddala ng'omulambo gwe guggyiddwaayo mu ddwaaliro gye gukyali.