Tuesday, July 14, 2020

Kabaka tebagenda kumukongojjera mu kukuza amatikkira ge

Kabaka tebagenda kumukongojjera mu kukuza amatikkira ge

KABAKA Mutebi II si wakukongojjebwa ng'Obuganda bukuza amatikkira ge ag'omulundi ogwa 27 olw'okutya okusasanya kw'ekirwadde kya ssenyiga omukambwe wabula wakulamusa Mujjaguzo.
Zino z'ezimu ku nteekateeka z'okujjukira amatikkira omwaka guno ezanjuddwa Minisita w'ennono,obuwangwa n'obulambuzi era Ssentebe w'olukiiko oluteesiteesi lw'emikolo gino, David Kyewalabye Male 
"Sssabasajja wakulamusa mujaguzo naye mu nkolaa eya sayansi.
Ekirala ekitaggya kukolebwa olw'okuba tuli mukwetangira ssenyiga corona Kabaka tajja kukongojjebwa naye emikolo emirala ng'ogwa sseruti ogukolebwa ab'ekibe n'okusanyusa okw'ennono,gijja kukolebwa," Kyewalabye Male bwategezezza.
Omukolo guno okusinzira ku Kyewalabye gwakutambulira essaawa bbiri okutandika ku ssaawa ttaano ezo ku makya nga July 31,2020 mu Lubiri e Mmengo ng'abantu 55 bebayitiddwa.
"Omukolo guno engeri gyeguli gwa sayansi,enteekateeka zikoleddwa buli omu okugugoberera mu ddiiro lye. Bonna abanajja ku mukolo guno bakwambala masiki,bajja kukeberebwa ebbugumu,okunaaba mu ngalo n'okweewa amabanga,"Kyewalabye bweyagambye.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts