Bino yabyogeredde Kamwokya bwe yabadde atongoza kkaadi n'ebigendererwa by'ekibiina ky'akulira ekipya ekya National Unity Platform (NUP).
Kyagulanyi yagambye nti ezimu ku mpagi ekibiina kye kwe kigenda okwesigama kwe kussaawo enkola ezirwanyisa n'okuggyirawo ddala obusosoze mu mawanga bwe bagamba nti Gavumenti eriko ebukoze nnyo.
Mu birala mulimu enfuga etambulira ku mateeka, okuwa eddembe ly'obuntu ekitiibwa, okukulaakulanya bannansi, okulaga embalirira n'ensaasanya entuufu eri Bannayuganda, okulwanyisa enguzi, okugatta Bannayuganda n'ebirala.
"Okwegatta kutandikira ku mutendera gwa mukulembeze wa ggwanga, eno y'ensonga lwaki bannaffe aba JEEMA tebaataddewo Pulezidenti era tugenda mu maaso n'okuyita bannaffe abalala batwegatteko tutandikire ku Museveni; Bamumpeemu kuba nze mwewulira,"Bwatyo Kyagulanyi bwe yagasseeko wakati mu nduulu okuva mu bawagizi be.
Yagumizza Bannayuganda ababadde batidde ku kibiina ekipya nti anaakyagazisa atya abantu mu kabanga akatono n'abajjukiza nti bwe yali atandika ebyobufuzi e Kyaddondo abantu baali bamanyi Bobi Wine naye mu bbanga lya wiiki ssatu zokka ‘Kyagulanyi Ssentamu' baali bamutegedde.
"Njagala Bannayuganda bonna abaagala enkyukakyuka bamanye nti NUP ye People Power empandiise era awo tusimbudde teri kudda mabega bajja kutwekangira mu State House," Bwatyo Kyagulanyi bwe yakkaatirizza.
Baatongozza ne kaadi z'ekibiina ng'okugifuna osasula 1,000/- ne baduulira ababadde babajerega nti bayizi balungi era ebigezo babyetegekedde naye tebalina waakubituulira kiyite ‘Centre number' ng'ekyo kye kibiina.
Yagambye nti oluvannyuma lw'okuwandiisa NUP, "People Power" esigaddewo era ekyakola nga mwe bagenda okusigala nga bakolagana ne bannaabwe ab'ebibiina ebirala mu kiyitibwa People Power Alliance.
Lewis Rubongoya Ssaabawandiisi w'ekisinde kya People Pwer yagambye nti bamaze okutongoza enkalala z'abantu mwe baneewandiisiza ne NUP era egenda kusindikibwa ku miruka gye bajja okwewandiisiza.