Ekikangabwa kino kigudde zooni 2 e Mutungo mu munisipaali y'e Nakawa Jakline Nakamwonda 35 bw'asse bba Simon Oloboy nga yeeyambisa akambe.
Annet Namuyimbwa omutuuze mu kitundu kino agambye nti abafumbo bano babade batera okuyomba nebalwanagana era nga Nakamwanda abadde atera okukuba bbaawe ng'oluusi kiva ku mwenge gwabade atera okunywa.
Ayongede nagamba nti enyumba gyebabade basulako omukazi yabade yagipangisa naye ng'ayisa bubi bbaawe nga yakola buli mulimu ewaka. kigambibwa okumutta amugambye okugenda okukola nagaana.
Abafumbo bano baatandise okuyomba ekiro mu budde bw'okumakya ku ssaawa 1 kigambibwa Nakamwanda wasogedde Oloboy akambe mu kifuba ,mu bulago wamu n'okumukuba omuggo ogukanda engaano ku mutwe, bwamaze okumutta, omusaayi yagusimudeewo okusobola okubuza obujjulizi.
Sentebe wa zooni eno Adam Kibuuka yategezeza nti abafumbo bano baali babagoba ku kyalo kubanga baali balwana buli kiseera ng'omukazi akuba omusajja era nga yagezaako n'okutta omwana we kyoka weyadamu okuyita mu kitundu kino nga bagaba emmere yamusangawo namutegeeza nga bwebaali bagonjola ensonga zino.
Omwogezi wa Poliisi owa Kampala ne miriraano Luke Owoyesigyire agambye bwebafunye amawulire g'ettemu lino bayanguye mangu nebakwata Nakamwanda era engeri gyeyasimudde enyumba kirabikira ddala nti yabade alina ekigendererewa kyokutta bbaawe era bamugudeko omusango gwobutemu ng'akumibwa ku poliisi ye Jinja road.