PULEZIDENTI Museveni azzizzaayo empapula okwesimbawo ku bwa Pulezidenti mu 2021 ku ttiketi ya NRM n'okuddamu okulondebwa ku bwa ssentebe bw'ekibiina kino.
Museveni agambye nti, waliwo kyekuubiira mu ngabanya y'ebyobugagga mu ggwanga n'ategeeza nti, ekyo kirina okunogerwa eddagala mu bwangu eby'obugagga bigabanyizibwe mu bitundu by'eggwanga byonna.
Ono eyabadde ayogera ng'eddoboozi ssaakaavu y'etonze n'agamba nti, wiiki ewedde yabadde n'enkiiko nnyingi ate nga yabadde ayogera alina masiki ku mimwa ne kikosa eddoboozi lye.
Agambye nti, ku Ssande yafunyemu okutya nti alina Corona oluvannyuma lw'okutandika okusiiyibwa emimiro n'ayita abasawo ne bamuggyako ebyetaagisa era ku lunaku olwo akawungeezi ne bamuddiza ebivudde mu kukebera ne bamugamba nti, talina Corona.
Ayongeddeko nti, baamugambye nti, waliwo akawuka akayinza okuleeta eddoboozi okusaakaala. Ayongeddeko nti, ku Mmande, yagenzeeko mu lutuula lwa kkabinenti naye era eddoboozi ne limulemesa okuteesa. Agambye nti, kati, akozesa enniimu, entangawuzi n'omubisi gw'enjuki.
Museveni alabudde abantu okweyongera okuteeka ebiragiro bya minisitule y'Ebyobulamu mu nkola okwongera okulwanyisa Corona.
Ayogedde ne ku mukazi Eunice Chebutai 34, eyafudde Corona e Namisindwa n'agamba nti, yagendako e Kenya n'akomawo mu ggwanga oluvannyuma lw'enaku ttaano n'alwala ne bamutwala mu ddwaliro e Namisindwa gye baamuggya okumutwala mu ddwaliro eddala e Mbale gye yafiiridde.
Ayongeddeko nti, singa aba ffamire ya Chebutai baawuliriza ebiragiro bya minisitule y'Ebyobulamu, osanga yandibadde asobola okutaasibwa. Yakubirizza abantu bwe bakwatibwa obulwadde ne bateebereza okuba Corona, tebagenda mu bulwaliro butono kubanga tebusobola kujjanjaba Corona wabula okwongera obulwadde okusaasaana.
Ayongeddeko nti, ebbanga ttono eriyise, abasawo e Mulago baafuna omulwadde omuzibu ennyo n'okusinga eyafudde e Namisindwa ng'alina akawuka akaleeta mukenenya ne Corona ne bamujjanjaba n'awona.
Ayongeddeko nti, ng'ensi yonna bw'ekyanoonya eddagala eriyinza okuweweeza ku Corona, enkola eriwo ya kwewala kukwatibwa.
Museveni agasseeko nti, wadde eggwanga liyise mu kaseera akazibu emyezi ena egiyise, eby'enfuna by'eggwanga biteredde nnyo n'agamba nti, bbanka enkulu yalaze nti, siringi ya Uganda yeyongedde amaanyi bw'ogigerageranya ku ddoola ya Amerika.
"Twaggala ensalo, ne tuggala ekisaawe ky'ennyonyi naye Uganda ekyali bulungi, mulaba ssente ya Uganda erimu amaanyi bw'ogerageranya ne ddoola, tetugudde era tutambula bulungi, tulina kasooli mungi, ssukkaali mungi, amata mangi bvye tusobola okutunda ku katale k'ensi yonna." Museveni bw'agambye.
Agasseeko nti, amasomero tegakola naye eby'enjigiriza biri bulungi, ebitundu 75 ku 100 ebya Bannayuganda basobola okusoma n'okuwandiika, amakungula g'emmwanyi nago geyongeddeko. Agasseeko nti, ebisinga mu manifesito bituukiriziddwa.
Ayongeddeko nti, amaanyi bagenda kugateeka mu kutunda ebintu ebikolebwa mu Uganda ku katale k'ensi yonna omuli emmwanyi 7,000,000 ezirimibwa buli mwaka, ssukkaali n'ebikajjo.
Erinnya lya Museveni ku bifo byombi lyaleeteddwa Katikkiro wa Uganda, Dr. Ruhakana Rugunda ne lisembebwa abantu basatu okwabadde Gaddafi Nasur ne Hellen Seku.
Abalala abazzizzaayo empapula zabwe, yabadde Haji. Moses Kigongo omumyuka wa ssentebe wa NRM asooka eyabadde ayagala okuddamu alondebwe ku kifo kino. Erinnya lye lyaleeteddwa Sipiika wa palamenti Rebecca Kadaga.
Dr. Tanga Odoi akulira akakiiko k'eby'okulonda mu NRM agambye nti, baafunye omuntu omu alaze obwagazi okuvuganya ku kifo ky'obwa Pulezidenti ku kaadi ya NRM eyaggyeeyo empapula n'asasula era empapula n'azzizzaayo.
Ku kifo kya ssentebe wa NRM agambye nti, baafunye abantu babiri wabula omu yabadde tanasasula n'empapula z'okwewandiisa yabadde tanazzizzaayo ate nga baabadde baakoma ggulo ku ssaawa 11 ez'akawungeezi.
Ayongeddeko nti, obukwakkulizo bwonna bwe bazze bateekawo mu kulonda, Pulezidenti Museveni abadde abutuukiriza n'agamba nti, obwo bwe bukulembeze obutuufu. Yayongeddeko nti, Museveni kati asigalidde kukakasibwa obukiiko bwa NRM obufuzi okuli aka CEC ne NEC.