BYA MOSES LEMISA
MAKANIKA eyeeyise owa poliisi bamukutte n'alwanagana n'abaserikale ng'agamba nti tebalina kye bayinza ku mukola.
Godfrey Mwanje 30 ow'e Mpererwe nga makanika ye yezoobye n'abaserikale abakwasisa amateeka g'okulwanyisa ekirwadde kya COVID-19 , Mwanje alina munne gweyabadde naye nga bava okuziika e Busiika nga baweese abasaabaze ekimenya amateeka.
Bwe batuuse ku yunivasite y'e Bugenda awabaadde emisanvu gya poliisi yayiseewo ng'adduka misinde munne eyabadde asigadde emabega n'akwatibwa ekyawalirizza Mwanje okuyimirira amutaase. Yabeyanjulidde nga naye bwali omueirikale.
Mwanje yagambye yabadde alina gyava okuziika nga bamuweese ku piki piki abaserikale we baamukwatidde ne batandiika okumukuba nga kati bamuwayirizza nti ye yabaakubye.
"Amazima siri musirikale munsonyiwe ne ku piki piki mbadde sirina gwe mpeese ate kirabika mulabye bubi nze gwe babadde baweese bye mugamba nti mbakubye mulimba sisoboola kulwanyisa bantu babiri" Mwanje bwe yategeezezza.
Omuserikale wa tulafiki eyategerekeseko erya Toga yagambye nti Mwanje bwe baamusabye ebimumwogerako okukakasa nti muserikale we yatandikidde okubalwanyisa okukkakana ng'omuserikale eyabadde mu ngoye eza bulijjo amuyulizza esaati