Thursday, July 9, 2020

Abasiraamu balabuddwa okukomya okwerwanagana bokka na bokka

Abasiraamu balabuddwa okukomya okwerwanagana bokka na bokka







BYA JAMES  MAGALA 

Kino kidiridde Poliisi okuyoola abasiraamu 25 e Mpingi nga bagambibwa okuba abayeekera mu ba Allied Democratic Forces" ADF" ko n'abasiraamu abalala abaayoleddwa ku muzikiti gwa Masgid Noor ku William Street ababadde bawakanya eky'omuzikiti guno okuddizibwa Uganda Muslim Council.

Sheik Mubarack Mugerwa akulira Sipidqa Foundation mu kwogerako ne Bukedde ku kitebe kya Sipidqa Foundation mu Kisenyi,yategeezezza nti ekisinze okuzza Obusiraamu emabega,gwe mulugube ogususse mu bakulembeze ekibaviirako okulwelwanyisa bokka nabokka n'okulabika obubi eri abagoberezi baabwe.

Ono yanokoddeyo eky'Abasiraamu abaayoleddwa e Mpigi n'ategeeza nti bayinza okuba ddala nga si bayekera nti naye wabula olw'entyalo eziriwo mu Busiraamu nga buli omu ayogera kikye olw'okweyagaliza oluusi abamu bayinza okwogera obulimba ku bannabwe okwagala okusinga.

Sheik Mugerwa yagambye nti eky'okulabirako kye ky'Abasiraamu abaakwatiddwa poliisi nga bawakanya eky'omusigikiti gwa William okuddizibwa Uganda Muslim Supreme Council n'ategeeza nti kino kyabujega olw'ensonga nti emizikiti egisinga gyonna egyali egy'Abayindi nga n'ogwa William kweguli gitwalibwa Uganda Supreme Council.

Wano Sheikh Mugerwa we yasinzidde n'asaba Abasiraamu okukomya okwerwanyisa wabula butuule nga abakulu bakkaanye ku nsonga ezibatabula okusinga okudda mu kweyuzayuza ekibatuusizza n'okuyitibwa abayeekera.

Mu ngeri y'emu ono agamba nti ensonga z'omuzikiti gwa William zisobola okugonjoolwa wakati mu ku kkaanya awatali kukubagana nakwesongamu.

Wabula Sheik Mugerwa era yategezezza nti nga amasinzizo gakyali ku muggalo olw'ekirwadde kya Covid-19,Abasiraamu bateekwa okussa kubbali enjawukana wabula baveeyo n'eddoboozi erimu okwegatta ku bakulu ba madiini amalala okwogereza Gavumenti eggule amasinzizo.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts