Basabye abantu ababeera bazuulidwa ne Corona naye nga si bayi, bajjanjabirwe waka nga bateereddwako ebiragiro okusinga okutwalibwanga mu kalantiini.
Dr. Richard Idro, akulira abasawo mu kibiina kino, yategeezeza nti bagenze okukitunulamu nga balaba ssente z'omuwi w'omusolo nnyingi ezitokomoka mu kukuumira abantu abatali balwadde nnyo mu kalantiini kubanga abasinga si bayi, balina bubeezi bubonero era basobola okujjanjabirwa awaka waabwe.
Alambulude nti ebiseera ebisinga abasawo buli lwe bagendako mu woodi okukebera ku bantu nga bano babasanga bazannya matatu, nga bali ku WhatsApp oba nga beekubya bifaananyi na kwesekera kuba tebalina wabaluma.
Bano bonna Gavumenti eteekeddwa okubalabirira mu by'okulya n'engeri endala nnyingi mu bbanga lyonna lye bamala mu kalantiini.
" Weesanga ng'omuntu atwaliddwa mu kalantini ebbanga ly'amala mu ddwaaliro erya wiiki ebbiri oba esatu Gavumenti emusaasaanyirizaako obukadde obusoba mu busatu," Dr. Idro bwe yategeezezza bannamawulire ku Lwokutaano.
Dr. Frank Asiimwe yannyonnyodde nti okusinziira ku kunoonyereza kwe baakoze baakizudde nti ku bantu abatwalibwa mu kalantini mu malwaliro ga Gavumenti okujjanjabibwa 80 ku buli 100 tebabeera na bubonero bw'amaanyi, 15 babeera n' obubonero butono ddala era nga baatano bokka be babeera abayi.
Yagambye nti kino kitegeeza nti bano ebitundu 95 ku buli 100 bandibadde nga bajjanjabibwa waka nga bateekeddwako ebiragiro bye balina okugoberera naddala engeri y'okwerabiriramu n'obutakkirizibwa kuva waka okumala ekiseera ekigere, okutuusa nga bawonedde ddala, ng'emu ku ngeri y'okuziyiza okusaasanya obulwadde.
"Tusaba Gavumenti eteekewo ambyulensi nga zirimu abasawo waakiri ku buli ggombolola nga bano bayambako okukebera ku balwadde ababeera awaka era singa oli aba agaanye okuwona basobola okumuddusa amangu mu ddwaaliro," bwe yagambye.
Ssaabawandiisi w'ekibiina kino, Dr. Mukuzi Muhereza yagambye nti baagala ne lizaati z'abakebereddwa Corona zikomezebwengawo mangu kiyambeko okuziyiza okusaasaanya obulwadde buno naddala ng'oli abulina naye nga tamanyi.
Mu ngeri y'emu, baagala abasawo abali mu malwaliro g'obwannanyini bongere okubangulwa ku ngeri y'okujjanjabamu aba Corona kubanga abamu ku bajjanjabirwayo bamaliriza bafudde olw'okuba tebaweebwa bujjanjabi bulungi.