Monday, August 31, 2020

Dr. Aggrey Kiyingi akolokose omubaka wa Makindye West mu Palamenti

Dr. Aggrey Kiyingi akolokose omubaka wa Makindye West mu Palamenti

Dokita Aggrey Kiyingi yeekokkodde omubaka wa Makindye West mu Palamenti Ibrahim Kasozi. Amuyise muli wa nkwe n'alabula n'abalonzi.

Kiyingi agamba nti yeesiga Kasozi n'amuwa obuvunaanyizibwa okukwanaganya emirimu gy'ekibiina kye ekya Uganda Federal Democratic Organisation (UFDO) kyokka ate ne yeefulira mu kiti ng'embazi n'atunda amawulire n'entegeka z'ekibiina kyabwe eri abeebitongole by'okwerinda.

Kiyingi obubaka yabuyisizza mu katambi n'ategeeza nti omubaka Kasozi abadde musaale nnyo mu kumenya ekibiina kya Uganda Federal Democracy.

" Kasozi mugeraageranya ku katikkiro bw'anaalya mu Kabaka olukwe. Awo ensi eba eweddewo,' Kiyingi bwe yagambye.

N'agattako nti Kati Kasozi ebyokubeera n'omuntu owa bulijjo yabivaako dda, ali na banene mu bitingole by'amagye be poliisi.

Kyokka wadde Kasozi tetwasobodde kumufuna, bino byonna azze abyegaana nti si bituufu.

Dr. Aggrey Kiyingi yeesogga ebyobufuzi era yalaganya okukomawo mu May w'omwaka gwa 2016 atandike okwenyigira mu by'obufuzi wadde Poliisi yali ekimussaako nti yeenyigira mu bikolwa by'obutujju n'okutta Abasiraamu.

Kyokka Kiyingi mu kwanukula azze yeegaana ebyokutta Abasiraamu n'ategeeza nti abatta Bamasheikh balala nti era basinziira ku bantu abenkwe.

Dr. Kiyingi azze awera nti talina musango era yali mwetegefu okukomawo mu Uganda yeetabe mu by'obufuzi by'okuggya gavumenti mu buyinza kyokka okuva mu 2016, talabikangako mu ggwanga okujjako okukolota gavumenti ng'ayita ku yintaneti.

Kiyingi musawo omukugu mu ggwanga lya Australia wabula gavumenti egamba nti bwe yaddayo oluvannyuma lwemisango ku gy'okutta mukazi we yatandikirawo okunoonya ensimbi n'ebyetaagisa ebirala era by'abadde aweereza mu Uganda bikozesebwe okuggyako Gavumenti.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts