Kazannyirizi Frank Mubiru amanyiddwa nga Chiko awonye okugwa mu masiga n'okulya ebikomando.
‘‘Bannange ekintu nkimaze. Nange emmere ng'enda kulyanga nnyige ng'ate ssi ya wooteeri. Mukama ampadde ekyana era kale corona tansaze nnyo ng'abalala" Bwatyo Chiko bwe yewaanidde ku banne.
Ku Lwomukaaga, Chiko yatandise ku lugendo lw'okufuna obufumbo obutukuvu ne kabite we Ofrah Melanie Akamumpa bwe yakyadde mu maka ga maama we muky. Hilda Katondwaki e Kawuku ku luguudo lw'e Ntebe.
Ng'ayogerako ne Bukedde, Chiko yategezezza nga bwe baali bateeseteese okukola emikolo gyonna omwaka guno kyokka batataganyiziddwa olw'embeera ya corona kwe kusalawo asooke akyale nga bwe balindirira okukola emikolo emirala omuli okwanjula n'embaga.
Wadde Chiko azze alabibwa ng'ebyana ebitali bumu nddala mu bivvulu ono yagambye nti abbo bawagizi be abamusemberera okwekubya naye ebifaananyi n'okubeerako naye naye omukyala alina omu Akamumpa amaze naye emyaka etano era amulinamu omwana omu era ebbanga lye bamaze bombi libamala okukakasa nti bagalaana n'okutwala laavu yabwe ku ddaala eddala.