Mu kunoonyereza kuno, Pulezidenti Museveni y'akulembedde mu ggwanga lyonna n'agobererwa Bobi Wine; olwo Dr. Kizza Besigye, Mugisha Muntu, Henry Tumukunde n'abalala ne bagoberera. Okunoonyereza kuno okwakolebwa mu March 2020 kwatambulidde ku kibuuzo ekigamba nti, "Ani gwe wandironze ku Bwapulezidenti bwa Uganda addako?"
Ebyayanukuddwa abantu abaabuuziddwa mu bitundu bya Uganda byonna biraze nti Pulezidenti Museveni yandibadde afuna ebitundu 50.06 ku 100 n'addirirwa Bobi Wine ng'alina 21.16 ku 100 ate Kizza Besigye owa FDC alina 6.8 ku 100.
Wabula abantu ebitundu 18.44 ku 100 baalaze nti tebannasalawo gwe banaalonda. Okunoonyereza kwongedde okulaga nti mu bitundu bya Buganda mwe musinga okuvuganya okw'amaanyi nga wano Museveni ne Bobi Wine battunka kubanga Museveni alina ebitundu 38.98 ku 100 ate Bobi Wine alina 32.79 ku 100.
Okunoonyereza kulaga nti mu Buganda, Besigye ayongedde okusereba era alina ebitundu 4.13 ku 100. Mu buvanjuba bwa Uganda Museveni alina 48.39 ku 100 ate Bobi Wine alina 18.55, ye Besigye yafunye 8.68 ku 100. Mu bugwanjuba, Museveni alina 58.38 ku 100, Bobi Wine alina 19.64 ku 100 ate Besigye n'afuna 7.30 ku 100.
Ebitundu by'obukiikakkono bwa Uganda abavuganya bonna Museveni abakubye kaga, n'ebitundu 60.20 ku 100 olwo Bobi ne Besigye ne bagoberegana nga Bobi alina 8.85 ku 100 ate Besigye 6.01 ku 100.
Bino by'ebitundu ebyawanga ennyo Museveni obuzibu mu kalulu okuva mu 1996 wabula bizze bikyusa ennonda ne bitandika okulonda NRM.
Okunoonyereza kuno kwakoleddwa mu disitulikiti za Uganda 45 nga zaalondeddwa mu bitundu by'eggwanga byonna nga babuuza abantu abatuusizza emyaka egironda 18 okudda waggulu.
Ebibuuzo ebyababuuziddwa nga bikwata ku by'enfuna, obulamu obwa bulijjo, ebyobufuzi n'obuwangwa. Abantu 6,072 be babuuziddwa ebibuuzo eby'enjawulo nga babagwako bugwi awatali kutunuulira kibiina kya byabufuzi oba ekitundu ky'eggwanga mwe bava.
Ku bantu bonna ababuuziddwa; ebitundu 20 ku 10 bali wakati wa myaka 18 -24, ab'emyaka 25 -29 baabadde ebitundu 21 ku 100 abalala ne bagoberera nga bakka era ab'emyaka 60 - 64 baabuuzizza ebitundu 3 ku 10 ate myaka 65 okudda waggulu ne babeera ebitundu 5 ku 100 nga kino kyesigamiziddwa ku bungi bw'abalonzi abali mu muteeko gw'emyaka egyo nga bwe gigabanyiziddwa.
Buli disitulikitu baalonzeemu emiruka esatu awatali kwetegereza kintu kyonna wabula nga bakozesa enkola ya "kanneemu kannabbiri…." era akalulu we kagudde nga gwe muluka gwe bagenda nagwo .
Be baabuuzizza abasinga obungi baasoma siniya. Bangi ku bantu abaabuuziddwa beekolera mirimu gyabwe era abalina emirimu gye bakola nga bafuna omusaala batono nnyo. Abanoonyereza baakizudde nti eno yeemu ku nsonga lwaki abalonzi bangi basobola okugulirirwa n'obusente obutono ennyo kubanga bakola "mmere ya leero" ate olumu bannyuka tebafunye ssente.
Amannya g'abantu abaali bavuganyizza gaalondeddwa okunoonyerezaako ng'abantu babuuzibwa ebibuuzo ne baanukula bye babamanyiiko n'endowooza yaabwe ku bantu oba ebibiina by'obufuzi bye bakiikirira.
Amannya agaasinze okuvaayo ku kifo kya Pulezidenti 2021, kuliko: Yoweri Kaguta Museveni, Robert Kyagulanyi Sentamu (Bobi Wine), Kizza Besigye, Mugisha Muntu ne Nobert Mao. Abalala kuliko: Henry Tumukunde, Joseph Mabirizi, Abed Bwanika, Male Mbazira, Maureen Kyalya, Olara Otunnu, Rebecca Kadaga, Jimmy Akena, Tumusiime, Elly Tumwine ne Miria Obote.
Ng'oggyeeko Museveni, Kagulanyi ne Besigye abasigadde tebaawezezza kitundu kimu ku 100 ku bululu bwe bayinza okufuna. Newankubadde nga mu lukalala lw'abanoonyerezeddwaako mulimu omukyala, abantu bangi bwe baababuuzizza oba ddala Uganda neetegefu okufuna pulezidenti omukyala, abasinga obungi obwedda baanukula nti Uganda tennaba kutuusa kiseera kukulemberwa mukyala.
Abantu 63 ku 100 bawakanya eky'okufuna pulezidenti omukyala ate 28 ku 100 bawagira okubeera ne pulezidenti omukyala. Abantu 6 ku 100 tebeekakasa oba ekiseera kituuse ate 3 ku 100 tebaayanukudde.
Abatayagala kufuna pulezidenti mukyala baawadde ensonga ez'enjawulo okuli okubeera nti tebalina bumanyirivu na bukugu mu byobufuzi, abamu bagamba nti olw'ekikula kyabwe tebasaanidde ate abalala bagamba nti abakyala batiitiizi.
Ensomga endala kuliko; abakyala banafu ate bangi tebaagala byabufuzi ate abalala bagamba nti okuviira ddala mu nzikiriza ez'enjawulo mu ddiini abakyala balina kukulemberwa basajja n'obuwangwa bwabwe tebukkiriza bakyala kukulembera basajja.
Newankubadde abawakanya abakyala bangi kyokka ababaagala nabo balina ensonga ze baawadde okuli: abakyala beesigwa, baagala demokulasiya okusinga abasajja, abakyala basobola, beetaaga enkyukakyuka era bagamba nti abakyala nabo balina eddembe lyabwe okwetabamu.
Kireetawo okunyweza omwenkanonkano era abakyala beesigwa.