Akakiiko akagenda okunoomyeza FDC akalulu mu Kampala ne Wakiso kaatongozeddwa omumyuka wa Pulezidenti w'ekibiina kino era meeya wa munisipaali w'e Lubaga Joyce Ssebuggwawo ku mukolo ogwabadde ku kitebe kyabwe e Najjanankumbi mu Kampala.
Aba FDC baagambye nti akalulu bagenda kukayigga mu ngeri ya ‘'kiyaaye'' engeri gye watagenda kubaawo kukirizibwa kukuba nkung'ana era bajjanga kuyita enkiiko za kiyita mu luggya poliisi enaagendanga okujja nga bo bavuddewo.
Akakiiko kano kaliko abantu bonna abeesimbyewo mu bifo ebitali bimu mu Kampala ne Wakiso era omwogezi w'ekibiina Ssemujju Nganda yabakuutidde nti balina okuba abajjagujjagu kuba ebiseera ebimu enkiiko zijja kuyitibwanga nga tebababulidde mu bulambulukufu we zigenda kutuula okwewala okutataganyizibwa ab'ebyokwerinda.
‘'Tugenda kukozesanga koodi (ennamba ez'ekyama) okubategeeza ebifo we tunatuulanga era olina okumanya koodi gye tukugambye ekifo ky'etegeeza'' Ssemujju bwe yakuutidde bakakuyege ba FDC mu Kampala ne Wakiso. N'asuubiza nti bajja kubongera obukodyo obulala obw'okuyigga akalulu.
Mu kiseera kye kimu Ssemujju yagambye bannmawulire nti COL. Kiiza Besigye wa ddembe okuddamu okukwatira ekibiina bendera bw'aba ayagadde okuvuganya ku okusunsula abaneesimbawo tekunabaawo. Abaagala entebe w'obwa Pulezidenti bajja kuggyayo empapula zaabwe wakati wa August 18 ne 19 bazikomyewo nga August 25 ne 26. Olwo balyoke basunsulwe.
Loodi meeya wa Kampala Erias Lukwago y'omu ku bababadde basuubirwa okuvuganya ku bwa Pulezidenti kyokka yabigyemu enta n'alemera ku kifo ky'aliko.