Friday, August 14, 2020

Ebipya ebizuuse ku Dodoviki eyamenye ekkanisa

Ebipya ebizuuse ku Dodoviki eyamenye ekkanisa





Nakalema yawadde abaserikale okuli ne bambega b'akola nabo mu kitongole ekirwanyisa obuli bw'enguzi mu maka g'Obwapulezidenti, okuyigga Dodoviko akwatibwe ku by'okumenya ekkanisa ya St. Peters' mu Ndeeba.

EBIZUUSE KU DODOVIKO

David Kavuma 64, yategeezezza Bukedde nti yatandika okulaba Dodoviko mu myaka gya 1990 nga makanika mu Ndeeba era ng'akanika mmotoka eza bulijjo kyokka oluvannyuma yatandika okukanika mmotoka z'abajaasi.

Kigambibwa nti mu kukanika emmotoka z'abajaasi, we yakwataganira n'eyaliko omuduumizi w'amagye, omugenzi Maj. Gen. James Kazini. Kigambibwa nti Kazini ye yamuyunga ku bannamagye abalala okutandika okukanika mmotoka zaabwe.

Kigambibwa nti yatandika okugenda mu kkanisa eyo mu 1998 era ekiseera ekyo yalina ggalagi mu Ndeeba okuliraana Masaku. Kavuma agamba nti Dodoviko yalina amaka mu Ndeeba n'atundawo oluvannyuma n'adda e Lubaga.

Mu kiseera kino kigambibwa nti asula Kololo wabula nti alina n'ennyumba endala e Nabbingo. Kavuma agamba nti wadde Dodoviko yali mmemba wa kkanisa wabula baakitegeerako nti ate emirundi egimu yasabiranga wa Paasita Simeon Kayiwa owa Namirembe Christian Fellowship ate olulala ng'asabira mu Kisenyi ewa Paasita David Kiganda owa Christianity Focus Centre.

Abaali bategeka okumuwa obukulembeze mu Kkanisa y'e Ndeeba nti beesikamu nga bakitegedde nti tanyweredde mu nzikkiriza emu ey'Ekkanisa ya Uganda.

Yatandika obutajja mu Kkanisa wabula bwe baabeeranga n'emikolo eminene nga bamuyita era bakyajjukira lwe yabawa obukadde 15 ez'okukyusa ekkanisa bateekewo ey'omulembe era kino kyaliwo mu 2015.

Nga Dodoviko tannamenya Kkanisa mu kiro ekyakeesezza Mmande, olukiiko lw'ekkanisa lwasoose kumusisinkana ne bakuba amavi aleme kugimenya, wabula ne yeerema.

Baamusabye akkirize asisinkane olukiiko olunene aluyitiremu entegeka z'alina wabula n'agaana ng'agamba nti abagumiikirizza ekimala.

Mu nsisinkano ezaasooka, Dodoviko yali ayagala ab'ekkanisa bakkirize bamuweeko yiika emu ku ttaka erya yiika ebbiri, basigaze awatudde ekkanisa.

Bino byaliwo nga Dodoviko tannafuna biwandiiko bya kkooti era Abakristaayo eky'okumuwa yiika y'ettaka ng'atwaliramu n'ekitundu ekiriko essomero n'ennyumba y'omwawule, baakiraba ng'okubajooga.

Mu nsisinkano ezaasembyeyo, Abakristaayo baabadde bamusaba atwale ekitundu kye yamenya edda okuli essomero, abalekere Ekkanisa, wabula ne yeerema.

Abakulembeze abamu obwedda babuusabuusa nti Dodoviko asobola okumenya Ekkanisa gye yamala ekiseera nga mw'asabira era nga yasonda ne mu kugizimba era abamu bagamba nti Dodoviko tali yekka.

Dodoviko agamba nti yagula ku baana b'omugenzi Evelyn Naccwa, era Omumbejja ono nti ye yawa ettaka lino eri Ekkanisa mu myaka gya 1970. Naccwa bwe yafa, abaana be oluvannyuma baatwala omusango mu kkooti.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts