Monday, August 3, 2020

Makanika abadde agezesa mmotoka atomedde abaana ne bafiirawo

Makanika abadde agezesa mmotoka atomedde abaana ne bafiirawo





Nnyina w'abaana bano yagenze okutuuka ng'abadduukirize bamaze okubatwala mu ddwaaliro e Kawolonaye ebyembi ne bafa nga tebannabatuusa.

Abagenzi Winnie Nalumaga 9, abadde asoma P3, ono nga yabadde ne muto we, Angel Namutebi abadde asoma P1 ku Buzaama P/S.

Baana ba Denis Kasimaggwa ne Grace Nalubowa, abatuuze ku kyalo Bbulamazzi mu Gombolola y'e Najja mu disitulikiti y'e Buikwe.

Nalubowa asangiddwa ku Poliisi gye babadde batutte emirambo gy'abaana be n'agamba nti, abaana baavudde awaka nga bagenze wa jjajjaabwe omusajja, God Kato azaala kitaabwe naye ng'abeera kumpi ne we babeera wadde baawula byalo.

Kigambibwa nti emmotoka yabatomedde oluvannyuma lw'okulemererwa omuvubuka w'e Kiyindi abadde agivuga nti agigezesa nga yaakamala okugikanika.

Yagambye nti baamuyise mangu nga balaba abaana be batomeddwa kyokka yagenze okutuukawo nga babatwala mu ddwaaliro lya Makindu Community HC 111 gye baabaggye oluvannyuma batwalibwe mu ddwaaliro e Kawolo naye ne bafa nga tebannabatuusa.

Mmotoka ya buyonjo eyatomedde abaana, abatuuze baabadde baagala kugikumako muliro kyokka poliisi n'egiggyawo mu bukuumi n'etwalibwa ku Poliisi e Kiyindi.

Emirambo gy'abaana gyasoose kutwalibwa mu ddwaaliro e Kawolo oluvannyuma ne giddizibwa bannyini gyo okugitwala okugiziika.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts