Monday, August 3, 2020

Aba Takisi mu ppaaka y'oku Kaleerwe batabuse lwakubagobaganya

Aba Takisi mu ppaaka y'oku Kaleerwe batabuse lwakubagobaganya

WABALUSEWO obutakanya mu ba takisi mu  ppaaka y'oku kaleerwe ekiwayi ekimu bwe kirumirizza nanyini ttaka kwe bakolera okupangisa ekiwayi ekirala n'abagobamu ng'ebbanga lye baalagaana terinaggwako .

Ppaaka eyitibwa Kaleerwe Out Stand Stages  esangibwa Kawempe  ng'ebadde mu ttaka lya Abdallah Gidino ba dereeva  gwe bagamba yamenye endagaano ey'emyaka 5 gye baakola ng'ebadde ebulaayo omwaka gumu egweko n'akwatagana n'ekiwayi  ekyagobwa  olw'okubulankanya ssente za ba dereeva n'abagobamu.

Ppaaka eno ekulibwa  Sulaiman Wasanyi  ng'erimu mmotoka ezigenda mu bitundu ebyenjawulo okuli Makasa, Buwambo , Ziroobwe , Kamuli , Jinja  ne ndala, mu kiro ekyakeesezza Mandeb a Dereeva baasuze mu ppaaka we baasengukidde nga balindirira ekibinja kye bagamba nti kyabaadde mu nteekateeka y'okubakolako obulumbaganyi wabula poliisi yabaddewo

Wasanyi yategeezezza nti  ppaaka yatandikibwawo mu 2012 ku ttaka ly'omugenzi Kaddu mmotoka bwe zeyongera obungi mu  2016  baakwatagana ne Abdallah Gidino nabawa ettaka ne bazigaziwa baakola naye endagaano ya myaka 5 nga buli mwezi babadde basasula obukadde 2000,000/ 

Yagasseko kyabeewunyisizza nnyo Gidino okukwatagana n'ekiwayi ekyagobwa olw'okubulankanya ssente zaba dereeva ku siteegi ye Bugerere nga bayambibwako Kalifani Musajjaalumbwa ne babagoba mu ppaaka, Yagasseko nti bwe baagobeddwa baakwataganye ne nnanyini poloti we baasokeera n'abakirizza okukolerawo

Musajjaalumbwa yategeezezza bukedde ku ssimu  nti kituufu ensonga  z'okujjawo ppaaka y'oku kaleerwe azirimu era ekifo yakisasudde emyaka 5 , yagasseko nti Wasannyi yagaana okwawula obukulembeze bwa ppaaka n'obukulembeze bwa siteegi ng'alina ,yagasseko nti Wasanyi  yakola ensobi  nawandiisa ppaaka mu maanya ge ekyatiisa nnanyini ttaka nti bandirimubbako kwe yasinzidde okumugobawo.

Musajjaalumbwa bwe yabuziddwa ku by'okukozesa erinnya lya Gen Kayanja yatabukidde munnamawulire namuvuma namusuubizza okumukuba ebikonde ng'agamba nti buli muntu mukwano gwa Kayanja ebimwogerako balimba .

Gidino nnanyini ttaka okubadde Ppaaka  yategeezezza nti Bukedde ku ssimu nti ensonga azimaanyiko ng'alina kwe yasinzidde okusazzamu endagaano ya Wansanyi balina bye baamenya

Hudu Hussein omubaka wa pulezidenti e Kawempe yategeezezza nti ensonga za siteegi eno yagenda okujja mu ofiisi nga weziri , yagasseko nti landiroodi yafunyemu obutakanya nasalawo okusazamu endagaano, yagasseko nti agenda kutuuzza enjuyi zonna okulaba batuuka kunzikiriganya

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts