Monday, August 3, 2020

Olukiiko lwa NRM e Bukasa Luyiise.

Olukiiko lwa NRM e Bukasa Luyiise.

Bya Kayemba Tonny

WABADDEWO okusika omuguwa ku Ofiisi za NRM e Bukasa-Masozi mu Ggombolola y'e Bweyogerere mu Munisipaali y'e Kira abantu abagambibwa okubeera abebibiina ebiralala bwebayingiridde omukolo gw'abwe nebakola olutalo okukakana ng'olukiiko luyiise.

Olukiiko luno olubadde luyitiddwa Majid Kiwanuka Ssentebe wa NRM e Bukasa lubadde lugenda mu Maaso olwo ekibinja ky'abavubuka nga bakulembeddwamu Andrew Bamuliya ne Hassan Mukungu kwekuyingirira olukiiko luno nebatandika okugamba abatesiteesi b'olukiiko nga bwelutalina kubaawo nti ofiisi kwebalukubidde y'akyalo siya NRM era ekibinjja kya Mukungu ne Bamuliya kwekulumba ofiisi nebajikulamu olujji ekyaleseewo akakyankalano n'okulwanagana okutuusa poliisi bweyakakanyiza embeera.

Rdc w'e Kira Isaac Kawonawo yatuuse mu kitundu kino nayimiriza olukiiko era nalagira Mukungu ne Bamuliya okutwalibwa ku Poliisi y'e bukasa gyebagaliddwa nga bavunanibwa okukuma mubantu omuliro n'okumenya olujji lwa ofiisi era wano Rdc kwekulagira ababadde baze ku Mukolo okugwamuka badde ewaka okwewala okusasaana kwekirwadde kya

Covid-19 nokutangira okulwanagana.

Majid Kiwanuka eyabadde ateseteese olukiiko luno ategezeza nga bwelwabadde olw'okutegeeza banna NRM kungeri y'okutambuzamu eby'obufusi nga tebamenye mateeka galungamizibwa Ministry y'eby'obulamu wabula nategeeza nga banaabwe abamu abatayagaliza kibiina kugenda mu maaso ate nga nabo bakulembeze bebabadde emabega wemivuyo jino nga baludde nga babalemesa wabula nasaba banna kibiina okukomya okubalwanisa entalo z'eby'obufuzi.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts