Wednesday, August 12, 2020

Winnie Kiiza yegasse ku kibiina kya Mugish muntu

Winnie Kiiza yegasse ku kibiina kya Mugish muntu

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n'aweza omuwendo gw'ababaka bana okuva mu FDC abeegasse ku kibiina kino.
Kiiza ayaniriziddwa olwalero mu lukungaana Maj. Gen. Mugisha Muntu akulira ekibiina kino lw'ayise okwogera ku nsonga z'ekkanisa eyamenyeddwa ku kitebe ky'ekibiina kino ku Buganda Road.
Kiiza yeegasse ku babaka ba palamenti abaasoka okuva mu FDC okuli Paul Mwiru ne Gerald Karuhanga ssaako omubaka wa Municipaali y'e Arua, Kasiano Wadri naye eyali mu FDC wabula kati mu Palamenti aliyo ku bwa nnamunigina.
Bw'abadde ayogera eri abawagizi ba ANT, Kiiza agambye nti, tewali kyatakoledde FDC, era teyejjusa kya kubeera ng'abadde mmemba waabwe era nabo tebejjusa kumukkiriza kubeegattako.
Ono, yalangirira obutaddamu kuvuganya ku kifo ky'omubaka omukyala owa Kasese nga July 14, era yagambye nti, bangi baalowooza nti asaaga.
"Mpulira amaanyi gange n'obusobozi bijja kubeera bya mugaso nnyo nga ndi mu kibiina ekitambulira ku mpisa." Kiiza bw'agambye mu kusakaanya okuva mu bawagizi.
Ayongeddeko nti, yavudde ku kifo kya mubaka wa palamenti kyokka olutalo lw'okulwanirira enfuga ennungi mu ggwanga tanaluvaamu n'agamba nti, agenda kwongera okulwana n'okusingawo ng'asinziira mu ANT ng'ali wamu n'ebibiina ebirala ebyagala enkyukakyuka mu ggwanga.
Bw'abadde amwaniriza mu kibiina, akulira abakunzi ba ANT mu ggwanga, Alice Alaso agambye nti, Kiiza muntu wa maanyi, atakyusakyusa bigambo bye.
Mugisha Muntu agambye nti, Kiiza yegasse ku ANT kubanga yakirabye nga kye kibiina ekitambulira ku mpisa gy'akkiririzaamu n'agamba nti, olunaku lumu, ANT ejja kukyusa Uganda.
Yagasseeko nti, essaawa eno, bali mu kusimba mirandira era abantu nga Kiiza, Mwiru, Karuhanga n'abavubuka abegasse ku ANT, gye mirandira gye betaaga okuzimba ekibiina ekijja okutwala obukulembeze bw'eggwanga mu maaso.
Ayongeddeko nti, mu lutalo olw'ekiyeekera olwaleeta NRM mu buyinza, baali Makerere ku yunivasite ne bannaabwe abalala ne basalawo okuyingira ensiko kyokka abamu ne bekyusa ne batagenda, olutalo lwaggwa ne beesisinkana mu Kampala, wadde bafiirwa emisomo, naye baakola ekitundu ku byafaayo by'eggwanga ebitagenda kuvaawo n'ategeeza nti, abeegatta ku ANT essaawa eno, bakola byafaayo.
Ono era yayogedde ku ku by'okumenya ekkanisa ya St. Peters mu Ndeeba n'agamba nti, abantu bwe baba n'emmundu ne ssente bakitwala nti obuyinza bwonna be babulina ne batuuka n'okumenya ennyumba ya mukama.
Ayongeddeko okusaba abakulembeze b'enzikiriza okuvaayo boogere ku bigenda mu maaso kubanga singa banaasirika bajja kwekanga nga be babadde balyowa emyoyo ate be bafuuse abalyoyi b'emyoyo gyabwe.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts