Monday, September 7, 2020

Biibino ebyawanguzza abanene mu kamyufu ka NRM

Biibino ebyawanguzza abanene mu kamyufu ka NRM

Minisita w'ebyamateeka n'ensonga za ssemateeka Polof. Ephraim Kamuntu mu kumumegga, teyasobodde na kukwata kifo kyakubiri wabula yamalidde mu kifo kyakusatu ng'addirira Polof. Elijah Mushemeza (eyali akulira akakiiko ka NRM akeebyokulonda).

Bapulofeesa bombi baawanguddwa Nixon Tugume eyabadde tamanyiddwa mu byobufuzi bya Sheema South ebadde ekiikirirwa Kamuntu ebbanga eddene.

Evelyn Anite minisita avunaanyizibwa ku nsonga za bayinvesita yayisiddwa bubi mutabani w'eyali Sipiika wa Palamenti Francis Ayume mu kalulu k'e Koboko era Dr. Charles Ayume ng'ono abadde mukozi mu maka g'Obwapulezidenti kati y'agenda okukwatira NRM bbendera mu kalulu ka bonna okukiikirira Koboko mu Palamenti.

Baminisita abalala abaawanguddwa kuliko ne Mary Karooro Okurut owa guno na guli, eyameggeddwa Annet Katusiime Mugisha.

Baminisita abalala abaasanze akaseera akazibu mu kalulu kano kuliko Adolf Mwesige, Dr. Elioda Tumwesigye, Mwesigwa Rukutana, Moses Kizige, Molly Kamukama, Kasiriivu Atwooki, Christopher Kibazanga, Simon Du jang, Beatrice Anywar ne Okello Oryem era abamu baafubye okulangirirwa ku ssaawa esembayo kyokka ne bireme ku basinga obungi.

Baminisita bangi baabalanze butadda mu balonzi ne babeera mu mirimu gy'eggwanga e Kampala ate abalala ne babalumiriza obutakola kimala kukozesa bifo byabwe okutumbula ebitundu bye bakiikirira.

AMAANYI GA SSENTE MU KALULU

Ssente zaazannye ekifo kya ku mwanjo okusalawo abaawangudde mu bifo ebimu era ye minisita Dr. Elioda Tumwesigye (owa Saayansi ne Tekinologiya) yalaajanirawo nga Dickson Kateshumbwa eyali kaminsona mu URA ayingidde akalulu ka Sheema Municipality era n'atandika okuteekamu ssente n'okugabira abalonzi omwali n'abakazi be yagabira obugoye obuliko amannya ge.

Ekiseera kyatuuse nga ssente zisinga ekitiibwa ky'Obwaminisita kubanga awamu abalonzi obwedda bwe bamala okuweebwa ssente ate nga babasuubiza n'endala singa oyo abasuubizza aba ayiseemu.

Kyafuuse kizibu obutasimba ku lunyiriri lw'oyo alina ssente kubanga obutasimbako kyabadde kitegeeza kuggyibwa ku lukalala lw'abo abagenda okwongerwa ssente.

ABANENE MU GAVUMENTI

Baminisita abamu nga Evelyn Anite babadde n'entalo n'abakungu ba gavumenti Anite bwe baamukolokota ennyo olw'ebikujjuko ebyakolebwa e Koboko ng'agabidde abantu ambyulensi, yagamba nti akimanyi nti abantu be yayogerako nga Bamafia mu gavumenti bakyamutambulirako okukakasa nti tawangula kalulu.

Akalulu kaabaddemu okweraga eryanyi ly'ani asinga okuba okumpi n'abanene mu gavumenti n'ebitongole by'ebyokwerinda naddala poliisi n'amagye era abaabadde bakkiririzibwamu ebitongole by'ebyokwerinda bangi baayambiddwaako okutuuka ku buwanguzi.

Abayeeya Anite awo we baatandikidde okugamba nti lwe yalaalika abooludda oluvuganya mu kalulu akaggwa nti, "…tulina amagye!" kyandiba nga yali ategeeza nti "…..tulina amagi!"

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts