Monday, September 7, 2020

Luttamaguzi alojja ennaku y'ekkomera

Luttamaguzi alojja ennaku y'ekkomera





Luttamaguzi yakwatibwa ku Lwokusatu nga August 27 era kooti n'emusindika mu kkomera e Kitalya gy'amaze wiiki bbiri okutuusa lwe baamweyimiridde ku Lwokuna lwa wiiki ewedde nga poliisi okumukwata kigambibwa nti yali alina olukiiko lwe yali agenda okukuba olw'ebyobufuzi olumenya amateeka ga Corona.

Bwe yabadde ayogera ku mbeera gye yayiseemu mu kkomera, bannamawulire bwe baamusanze mu makaage e Bukoto ku Bukoto Flats mu Kampala, Luttamaguzi yagambye nti ekisookera ddala waliyo omujjuzo mungi.

Yagambye nti abavubuka bangi abakwatiddwa ku misango gy'ebyobufuzi wabula nga baggalirwa tebamanyi na lunaku lwe balivaayo kyokka ng'emisango egyabakwasa kwambala byambalo bimyufu omuli obukoofiira ne wovulo za People Power.

Omubaka Luttamaguzi alumiriza nti waliwo n'abasibe abatwalibwayo nga bakubiddwa bubi nnyo ne batafuna bujanjabi era bangi bafiiriddeyo mu kkomera.

ALUMIRIZZA ABANENE MU NRM

Luttamaguzi aliko abanene mu NRM okuva e Nakaseke b'agamba nti baagala kumutta mu kavuyo era beebaali emabega w'okumukwata n'embeera yonna eyaliwo eyalimu n'okukuba amasasi agamwonoonera n'emmotoka.

Agamba nti bwe yakwatibwa yatwalibwa mu kkomera gye yaggalirwa gye baali baagala kumuweera obutwa era omuserikale wa poliisi ye yamulabula kuba baayagala okumuwa ebyokulya naye n'amulabula obutakkiriza kulya kintu kyonna.

Yatuuse n'okulangira aba NRM obutaswala ne bavaayo ne bategeeza nga bwe abawagizi be bwe baayokezza mmotoka n'agamba nti emmotoka eyo ebadde tetambula era nga n'ekifo we bagamba we bagyokedde batisse ntikke okugireetawo nga ebadde teriimu yingini.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts