Tuesday, September 22, 2020

Chameleone yeekokkola aba Bobi okumucamuukiriza ate ne bamuyiwa

Chameleone yeekokkola aba Bobi okumucamuukiriza ate ne bamuyiwa

Ekifo abadde akivuganyaako n'omubaka wa Kawempe North, Latif Ssebaggala gwe kyaweereddwa abali ku kakiiko akasunsula akamyufu ka National Unity Platform (NUP) ne balaga nga bwe baatadde ababiri ku minzaani nga basinziira ku nsonga 11, Ssebaggala n'asinga Chameleone mu bintu bingi.

Ensonga bbiri okuli ettutumu n'obuyigirize, ze zaasinze obukulu ne kizuulwa nga bombi bamanyiddwa wadde nga Ssebaggala asinga ku Chameleone okumanyika mu byobufuzi mu Uganda n'ebweru wa Afrika ate nga Chameleone bagamba akoma mu mawanga ga buvanjuba bwa Afrika, (Uganda, Tanzania, Kenya, Burundi, Rwanda ne South Sudan).

lKu by'obuyigirize, Chameleone baamutaddeko ekigambo, ‘Has basic requirements' ekitegeeza nti alina obuyigirize kyokka ku Ssebaggala baalaze nti alina obuyigirize obwakakasibwa edda n'akakiiko k'eggwanga akakola ku by'okulonda.

lKino okusinziira ku nsonda mu kakiiko akasunsula ab'akamyufu mu NUP akakulirwa Mercy Walukamba, singa bawa Chameleone kkaadi, akakiiko k'ebyokulonda mu ggwanga ne kamuggyamu, kifiiriza NUP.

Mu kusooka, Chameleone yalaga nga bw'agenda okwesimba ku bwa Lord Mayor attunke ne Erias Lukwago mu kadde ako nga Ssebaggala tannalaga nga naye bw'ajja ku kifo ky'ekimu wabula nga bwe bamubuuza ebikwata ku buyigirize bwe tammuka.

Kyewuunyisa bangi ng'ebigezo bya S6 bifulumye mu February wa 2020, amawulire bwe gaalaga nti y'omu ku baabituula mu 2019 ku ssomero lya Katuuso Community S.S e Makindye n'afuna obubonero 12.

Wabula waliwo abaagamba nti baabimutuulira ne baleeta n'ekifaananyi ekiraga nti nga November 14, 2019 Chameleone yali Nabbingo mu Bataka mu kwanjula kwa muyimbi munne Rema Namakula bwe yali ayanjula Dr. Hamza Ssebunnya kyokka nga ku lunaku lwe lumu yalinayo ekigezo ne babuuza bwe yakikola.

Nga bikomyewo, Chameeone yagamba nti yasooka kutuula siniya eyoomukaaga mu 1998 naye okugiddamu mu 2019, yayagala kugyekakasa. Nga balonze Ssebaggala ku Lwomukaaga, Chameleone yakolimye n'agamba nti bw'aba nga Bobi Wine akyesiga abasajja abakadde mu myaka nga ba Ssebaggala, ali mu buzibu.

lEbirala bye baasinziddeko okulonda Ssebaggala mwabaddemu eky'obwesige abantu bwe bamuwa ne balaga nti asobola okwesigika okusinga ku Chameleone, amusinga obuganzi mu kibiina kya NUP n'okukibeererawo, eby'obukulembeze kubanga abiruddemu. Baayongeddeko nti ssente za Chameleone ziva mu kuyimba so nga eza Ssebaggala ziva mu Palamenti ne bbizinensi endala ng'amasomero.

Henry Lubowa nga y'akulira kampeyini za Chameleone yategeezezza Bukedde nti baajulidde mu NUP olw'okuwa Ssebaggala kkaadi ng'ate yalaga NUP nti yabivaamu n'addayo ku ky'omubaka w'e Kawempe olwo Chameleone n'asigala yekka mu lwokaano era beewuunyizza bwe baamuwadde kkaadi yaabwe.

Omwogezi wa NUP, Joel Ssenyonyi agamba nti abeesimbyewo ku kkaadi z'ekibiina ekyo babadde n'enkola entongole ey'ekibiina gye bagoberera okubasunsula omuli okunoonyereza mu balonzi baabwe bamanye abasinga amaanyi be baba bawa kkaadi kubanga bakolera ku maanyi g'abantu (People Power).

Abalala abagenda okuvuganya ku kya Lord Mayor ye Lukwago (FDC) ne Daniel Kazibwe amanyiddwa nga Raga Dee (NRM). Ensonda zigamba nti Chameleone bw'ataddayo mu DP gye yava, agenda kwesimbawo ku lulwe.

ABASUNSULA akamyufu mu kibiina kya
NUP ekya Bobi Wine basudde Jose Chameleone
okwesimbawo ku kya Loodi Meeya
wa Kampala lwa buteesiga buyigirize bwe.
Kino kiggye Chameleone mu mbeera n'ata
akakaka.
Ekifo abadde akivuganyaako n'omubaka
wa Kawempe North, Latif Ssebaggala gwe
kyaweereddwa abali ku kakiiko akasunsula
akamyufu ka National Unity Platform
(NUP) ne balaga nga bwe baatadde ababiri
ku minzaani nga basinziira ku nsonga 11,
Ssebaggala n'asinga Chameleone mu bintu
bingi.
Ensonga bbiri okuli ettutumu
n'obuyigirize, ze zaasinze obukulu ne
kizuulwa nga bombi bamanyiddwa wadde
nga Ssebaggala asinga ku Chameleone
okumanyika mu byobufuzi mu Uganda
n'ebweru wa Afrika ate nga Chameleone
bagamba akoma mu mawanga ga buvanjuba
bwa Afrika, (Uganda, Tanzania,
Kenya, Burundi, Rwanda ne South
Sudan).
lKu by'obuyigirize, Chameleone
baamutaddeko ekigambo,
‘Has basic requirements'
ekitegeeza nti alina obuyigirize
kyokka ku Ssebaggala baalaze
nti alina obuyigirize obwakakasibwa
edda n'akakiiko
k'eggwanga akakola
ku by'okulonda.
lKino okusinziira
ku nsonda
mu kakiiko
akasunsula
ab'akamyufu mu
NUP akakulirwa
Mercy Walukamba,
singa bawa Chameleone kkaadi,
akakiiko k'ebyokulonda mu ggwanga ne
kamuggyamu, kifiiriza NUP.
Mu kusooka, Chameleone yalaga nga
bw'agenda okwesimba ku bwa Lord Mayor
attunke ne Erias Lukwago mu kadde ako
nga Ssebaggala tannalaga nga naye bw'ajja
ku kifo ky'ekimu wabula nga bwe bamubuuza
ebikwata ku buyigirize bwe tammuka.
Kyewuunyisa bangi ng'ebigezo bya S6 bifulumye
mu February wa 2020, amawulire
bwe gaalaga nti y'omu ku baabituula mu
2019 ku ssomero lya Katuuso Community
S.S e Makindye n'afuna obubonero 12.
Wabula waliwo abaagamba nti baabimutuulira
ne baleeta n'ekifaananyi ekiraga nti
nga November 14, 2019 Chameleone yali
Nabbingo mu Bataka mu kwanjula kwa
muyimbi munne Rema Namakula bwe yali
ayanjula Dr. Hamza Ssebunnya kyokka nga
ku lunaku lwe lumu yalinayo ekigezo ne
babuuza bwe yakikola.
Nga bikomyewo, Chameeone yagamba
nti yasooka kutuula siniya eyoomukaaga
mu 1998 naye okugiddamu mu 2019,
yayagala kugyekakasa.
Nga balonze Ssebaggala ku Lwomukaaga,
Chameleone yakolimye
n'agamba nti bw'aba nga Bobi Wine
akyesiga abasajja abakadde mu
myaka nga ba Ssebaggala, ali mu
buzibu.
lEbirala bye baasinziddeko
okulonda Ssebaggala
mwabaddemu
eky'obwesige abantu
bwe bamuwa ne
balaga nti asobola
okwesigika okusinga
ku Chameleone,
amusinga obuganzi
mu kibiina kya NUP
n'okukibeererawo,

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts