Tuesday, September 22, 2020

Akulira Uganda Tourism board akubirizza abantu okutumbula eby'obulambuzi nga bayita mu nnima ey'omulembe

Akulira Uganda Tourism board akubirizza abantu okutumbula eby'obulambuzi nga bayita mu nnima ey'omulembe

Bya Brian Meembe
Akulira ekitongole kye by'obulambuzi mu ggwanga ekya Uganda tourism board Lilly Ajarova akubirizza abalimi mu gwanga okulaba nga esiira baliteeka ku byobulimi okusobola okutumbula  eby'obulambuzi mu ggwanga.
Bino okubyogera abadde alambula ezimu ku nimiro z'abalimi mu bitundu bya western region omuli Mbarara, ne Sheema nga eno asisinkanye abalimi abalima enva endiirwa,n'abalunzi.
Ono agambye nti singa bakikola obwavu mu ggwanga bwandifumwa wamu n'okwongera okufunira Bannayuganda emirimu era n'asuubiza nga ekitongole kino ekya Uganda tourism board bwekigenda okukwataganira awamu nabo okulaba nga ebyobulimi butumbulwa mu gwanga.

 

Ethaman basasha nga mulimi wenva endiirwa mu kitundu kino yekokodde ekirwadde kya covid 19 ekibafiirizza obukadde n'obukadde bwensimbi era nga ategeezezza nti singa baali bakoledde wamu ne kitongole kya Uganda tourism board basobola okuganyulwamu ekyamaanyi mu bintu bye bakola nga bayita munkola eya agro tourism.
Ono era asabye abantu be bugwa njuba okwongera amaanyi mu bulimi nobulunzi newankubadde nga balina ettaka ttono kuba basobola okulikozesa okfunamu ensimbi eziri mu bukadde nobukadde.
Ono alambuzza abakungu okuva mukitongole kya Uganda tourism board ennimiro ez'enjawulo omubadde n'ensolo zaalunda era nawa amagezi omuntu yenna eyali yagadde okulunda obumya ebintu byateekeddwa okukola wamu ne biringanya owa kiro 3.
Sandra Natukunda nga yemwogezi w'ekitongole kino awadde abalimu bano essuubi nti nga ekitongole ekivunaanyizibwa ku by'obulambuzi baakukolagana n'abalimi okulaba nga batumbula eby'obulimi n'obulambuzi.Ono asuubizza abalimi bano okubakwatizaako nga bateekawo emikutu mu bantu abenjawulo abalambuzi abasobola okugula byebaba balimye .

 

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts