Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.
Joseph Nuwashaba 22 nga mutuuze ku kyalo Kijjabwemi mu ggombolola ya Kimaanya Kyabakuza e Masaka yaleeteddwa mu kkooti akawungezi ka leero oluvannyuma lw'abaserikale okuva mu kitongole ekinoonyereza ku buzzi bw'emisango okuva e Kampala okumuleeta mu kkooti e Masaka awerennembe n'emisango egimuvunaanibwa.
Ono asimbibwa mu maaso g'omulamuzi wa kkooti ento e Masaka Grace Wakooli n'amusomera emisango esatu okuli; ogw'okutta, okukabassanya saako n'okuwamba n'ekigendererwa eky'okusaddaaka omwana era amugaanyi okubaako ne ky'ayogera ng'agamba nti emisango gyonna egimuvunaanibwa gya nnaggomola nga girina kuwulirizibwa mu kkooti Enkulu bw'atyo n'amusindika ku alimanda okutuusa nga 12/10/2020.
Kigambibwa nti Nuwashaba emisango gyonna yagizza nga 13/09/2020 bwe yakozesa omwana Faith Kyamagero, oluvannyuma n'amutta ate n'amala n'apakira omulambo gwe mu bookisi n'aguleeta mu Palamenti agukwase sipiika wa Palamenti.
BYA PHIONA NANNYOMO