Monday, September 21, 2020

Kabaka atenderezza emirimu egikoleddwa Kitaka

Kabaka atenderezza emirimu egikoleddwa Kitaka




Bino bibadde mu bubaka bwe yatisse Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga mu kusabira omugenzi okwabaddde mu Lutikko e Lubaga ku Lwokutaano.

Yamwogeddeko ng'omusajja aweerezza obulungi ensi ye ng'omusuubuzi omututumufu abadde akola emirimu mu bwerufu, ate nga teyeebalira, ekiyambye okukyusa obulamu bw'abantu bangi.

Kabaka era yagambye nti Kitaka abadde kyakulabirako kirungi eri abantu bonna n'abasaba okuyigira ku bulamu bwe okukulaakulanya eggwanga.

Ye Katikkiro, Charles Peter Mayiga yagambye nti, Kitaka abadde byakola nga by'ayogera ekiwa abamuwulira amaanyi nabo okugoberera ekyokulabirako kye.

"Kitaka abadde akubiriza abantu okukola era naye abadde mukozi. Ku myaka 63 abalala we bagendera okulera Abazzukulu ate ye we yatandikira kampuni ya Quality Chemicals." Mayiga bwe yagambye.

Mu kusonda ssente z'ettoffaali, Mayiga yagambye nti Kitaka yamuwa ssente mpitirivu ku lulwe ne ku lwa kkampuni ze era nga kkampuni ya Cipla ye yasinga okumuwa ssente ennyingi. Yasabye aba ffamire okuwandiika ekitabo ku Kitaka abantu basobole okumusomako babeeko bye bamuyigirako.

Ate Ssaabasumba w'essaza Ekkulu erya Kampala, Cyprian Kizito Lwanga yagambye nti Kitaka abadde Mukatoliki atemotyamotya era bwe yali mu mbeera embi yayita Fr. Luzindana n'amuwa Essakalamentu ly'okusiigibwa kw'abalwadde, asobole okuva mu nsi nga mutukuvu. Ate ye muwala w'omugenzi Phiona Kitaka Migadde yagambye nti kitaawe abayigirizza okukola ng'abajjukiza ekiseera kyonna nti bizinensi etambulira ku bantu.

Ye Emmanuel Katongole mukoddomi wa Kitaka yeeyamye okukwatagana ne ffamire okumaliriza ekitabo ‘My Way' omugenzi kyabadde awandiika era ssente ezinaavaamu zaakuweebwa Eklezia zigiyambe mu mirimu gyayo.

Kitaka aziikibwa leero ku Ssande e Bunnamwaya mu munisipaali y'e Makindye Ssaabagabo e Wakiso ku bijja bya bakadde be.

Ajjukirwa ng'omuddugavu eyasooka okusoma eby'okutabula eddagala n'okukola bizinensi y'okutunda eddagala ly'ebirime nga yiye ng'omuntu. Yazaalibwa 1934 nga bazadde be, be bagenzi; Celestine Musoke Mayambala ne Monica Musoke.

SSAABASAJJA Kabaka wa Buganda
Ronald Muwenda Mutebi
atenderezza emirimu egikoleddwa
Francis Xavier Kitaka eyafa obulwadde
bwa Corona ku Lwomukaaga
oluwedde. Bino bibadde
mu bubaka bwe yatisse Katikkiro
wa Buganda, Charles Peter
Mayiga mu kusabira omugenzi
okwabaddde mu Lutikko e Lubaga
ku Lwokutaano.
Yamwogeddeko ng'omusajja
aweerezza obulungi ensi ye
ng'omusuubuzi omututumufu
abadde akola emirimu mu bwerufu,
ate nga teyeebalira, ekiyambye
okukyusa obulamu bw'abantu
bangi.
Kabaka era yagambye nti Kitaka
abadde kyakulabirako kirungi eri
abantu bonna n'abasaba okuyigira
ku bulamu bwe okukulaakulanya
eggwanga.
Ye Katikkiro, Charles Peter
Mayiga yagambye nti, Kitaka
abadde byakola nga by'ayogera
ekiwa abamuwulira amaanyi nabo
okugoberera ekyokulabirako
kye. "Kitaka abadde akubiriza
abantu okukola era naye abadde
mukozi. Ku myaka 63 abalala we
bagendera okulera Abazzukulu
ate ye we yatandikira kampuni ya
Quality Chemicals." Mayiga bwe
yagambye.
Mu kusonda ssente z'ettoffaali,
Mayiga yagambye nti Kitaka
yamuwa ssente mpitirivu ku lulwe
ne ku lwa kkampuni ze era nga
kkampuni ya Cipla ye yasinga
okumuwa ssente ennyingi.
Yasabye aba ffamire okuwandiika
ekitabo ku Kitaka abantu
basobole okumusomako babeeko
bye bamuyigirako.
Ate Ssaabasumba w'essaza
Ekkulu erya Kampala, Cyprian
Kizito Lwanga yagambye nti
Kitaka abadde Mukatoliki
atemotyamotya era bwe yali mu
mbeera embi yayita Fr. Luzindana
n'amuwa Essakalamentu
ly'okusiigibwa kw'abalwadde, asobole
okuva mu nsi nga mutukuvu.
Ate ye muwala w'omugenzi
Phiona Kitaka Migadde yagambye
nti kitaawe abayigirizza okukola
ng'abajjukiza ekiseera kyonna nti
bizinensi etambulira ku bantu.
Ye Emmanuel Katongole
mukoddomi wa Kitaka yeeyamye
okukwatagana ne ffamire
okumaliriza ekitabo ‘My Way'
omugenzi kyabadde awandiika
era ssente ezinaavaamu zaakuweebwa
Eklezia zigiyambe mu
mirimu gyayo.
Kitaka aziikibwa leero ku
Ssande e Bunnamwaya mu munisipaali
y'e Makindye Ssaabagabo
e Wakiso ku bijja bya bakadde
be. Ajjukirwa ng'omuddugavu
eyasooka okusoma eby'okutabula
eddagala n'okukola bizinensi
y'okutunda eddagala ly'ebirime
nga yiye ng'omuntu.
Yazaalibwa 1934 nga bazadde
be, be bagenzi; Celestine Musoke
Mayambala ne Monica Musoke.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts