Monday, September 21, 2020

Nagirinya: Ffayiro ye efuuse ensonga mu muliro gw'e Katwe!

Ebintu ebirala ebyabadde mu ofiisi nga n'ezisinga mpapula tebyayidde Ffayiro z'obutemu, ebizibiti n'ez'obufere obulimu ssente ennyingi nazo tezaasimattuse. Ensonda ku poliisi e Katwe zaategeezezza nti mu bintu ebyayidde, mwabaddemu ne ffayiro y'omusango gw'okuttibwa kw'omuwala Maria Nagirinya ne ddereeva we Ronald Kitayimbwa abattibwa nga August 28, 2019. Omuliro gwakutte ku Ssande ya wiiki ewedde mu budde bw'ekiro wabula engeri gye gwakutte na buli kati ekyatakuza abatwala poliisi emitwe. Kino kyawalirizza omuduumizi wa poliisi mu ggwanga okuyungula ttiimu eriko abaserikale b'ekitongole ekikwasisa empisa mu poliisi, abanoonyereza okuva ku kitebe kya bambega e Kibuli, n'abalala okuva ku kitebe kya poliisi ya Kampala South, okukola okunoonyereza ebyavuddeko omuliro, Ensonda zaategeezezza nti, ebintu ebyayidde ebirala, mwabaddemu ssente enkalu obukadde 80 nga kigambiabwa nti zaasiridde zonna ne zifuuka bisiriiza, era mwabaddemu n'ebizibiti ebirala ebya ssente obukadde 46, zino kigambibwa nti zabbiddwa. Kino kyatadde akulira okunoonyereza ku buzzi bw'emisango ku poliisi eno, ASP Gloria Rukundo mu kattu era kyategeerekese nti yakwatiddwa n'akola sitetimenti oluvannyuma n'ayimbulwa ku kakalu ka poliisi. KITEGEEZA KI KU MUSANGO GWA NAGIRINYA? Nga March 14, 2020 omulamuzi w'eddaala erisooka ku kkooti y'e Nateete, Joel Wegoye, yasindika abasajja musanvu abagambibwa okutta Nagirinya mu kkooti enkulu batandike okuwoza. Ku lunaku olwo, abasibe tebaaleetebwa mu kkooti, baali ku ka ttivvi (video conferencing) mu kkomera e Luzira omulamuzi n'abategeeza nti, abasindise mu kkooti enkulu. Abaasindikibwa mu kkooti enkulu kuliko; Coporiyamu Kasolo eyeeyita Arsenal, Johnson Lubega eyeeyita Etoo Rasta Manonmano, Nasif Kalyango eyeeyita Moyonge, Hassan Kisekka, Sharif Mpanga, Sadat Kateregga ne Raymond Okori. Omuwaabi wa Gavumenti mu musango guno, Immaculate Nambaju yategeeza kkooti nti, okunoonyereza kwali kuwedde era bajja kwesigama ku sitetimenti z'abavunaanibwa abakkiriza nti be batta Nagirinya n'ebifaananyi ebyakwatibwa kkamera z'oku nguudo. Nambaju yategeeza kkooti nti, era baali baakwesigama ku bbaluwa y'omusawo eyalaga nti, Nagirinya ne Kitayimbwa baafa oluvannyuma lw'okukubwa ekintu eky'amaanyi ku mitwe gyabwe. Bino byonna byateekebwa ku ffayiro y'omusango era omwogezi w'essiga eddamuzi, Solomon Muyita yagambye nti, abasibe balinze kutandika kuwozesebwa. Muyita yagambye nti, ekibadde kirwisizza omusango guno okutandika, obulwadde bwa Corona bwe bwajja mu ggwanga, kkooti enkulu yayimiriza okuwulira emisango gyonna naddala egy'amaanyi kubanga ekitongole ky'amakomera kyayimiriza okutwala abasibe mu kkooti. Yayongeddeko nti, omusango basuubira gujja kutandika mu lutuula lwa kkooti olunaddako singa Corona anaaba alinnyiddwa ku nfeete. BULI MUSANGO TUGUKOLERA FFAYIRO BBIRI - POLIISI Omwogezi w'ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw'emisango, Charles Mansio Twine bwe yatuukiriddwa yagambye nti, waliwo ebiwandiiko eby'omugaso ebyayidde kyokka tewali ffayiro ya musango gwonna yayidde. Yagambye nti omusango gwonna ogw'obutemu bwe gusindikibwa mu kkooti enkulu, ffayiro eva ku poliisi n'egenda mu ofiisi y'omuwaabi wa Gavumenti era y'aba agirinako obuvunaanyizibwa n'ategeeza nti, ne bw'eba eri ku poliisi, tebeera mu ofiisi y'akulira kunoonyereza ku buzzi bwa misango. "Ffayiro bw'ejja, akulira okunoonyereza ku buzzi bw'emisango agiyitamu n'agiweereza ew'omuserikale agenda okugikolako." Twine bwe yagambye. Yayongeddeko nti, bwe bamala okunoonyereza ku musango gwonna omunene, ffayiro bagikolamu kkopi era kkopi ebeera ekoleddwa, esigala ku poliisi ate ffayiro entuufu (original) n'etwalibwa ku kitebe kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw'emisango e Kibuli. "Abasibe abali ku musango gwa Nagirinya tebeeyibaala nti ffayiro yayidde," Twine bwe yagambye. Ensonda zaategeezezza nti, omusango gwa Nagirinya gulimu ekitategeerekeka wadde ng'abaakwatibwa bakkiriza nti be baamutta. Mu kusooka, waliwo ebyali bigambibwa nti, waliwo eyapangisa abavubuka nga abasinga baali baakava mu kkomera okutta Nagirinya nti era, omulimu baagubaweera mu kkomera e Luzira kyokka n'okutuusa kati, omuntu oyo eyali ayogerwako takwatibwa nga. OMUSANGO NZE NAGUKWASA KATONDA - KITAAWE WA NAGIRINYA Nagirinya yali muwala wa Francis Kimbowa omutuuze w'e Nsambya era yali akola mu kitongole kya CIDI, kitaawe n'abalala kye baatandika e Muyenga. Lubowa bwe yatuukiriddwa yagambye nti, omusango gw'okutemulwa kwa muwala we, yagukwasa Katonda kubanga byamulema okutegeera. "Abaserikale bajja wano ne bang'amba tewali kyamaanyi kigenda kuguvaamu kubanga abaakwatibwa baagambye nti, baava awaka nga bagenze kubba ng'enziba eyaabulijjo naye agenze okubba awamba n'atta?" Lubowa bwe yeebuuzizza. Nagirinya yawambibwa okuva mu Nabisasiro zooni e Lubaga ne ddereeva we ne babatta, emirambo ne bagisuula mu lusenyi lw'e Nakitutuli ku luguudo oluva e Mukono okudda e Kayunga. Lubowa akkiriza nti, muwala we waliwo omuntu eyapangisa abatemu okumutta era yagambye nti, singa baali bagenze kubba, tebandimusse omulambo ne baguvuga ne bagutwala ne bagusuula ate emmotoka ne bagivuga ne bagikomyawo e Kampala okumpi ne we yali asula. ABANTU MUNAANA BAKWATIDDWA Poliisi yakutte abantu munaana okuli n'abaserikale ba poliisi mukaaga ne baggulwako emisango omuli okukozesa obubi ofiisi, okwekobaana okuzza omusango n'okwonoona ebizibiti. Abaakwatiddwa kuliko; Karim Bakole akulira sitoowa ya poliisi e Katwe, D/IP Kibuuka, omuserikale wa Flying Squad eyategeerekeseeko erya Kawaawa, IP Ejonu, PC Esther Among akulira ekkomera ly'abakazi, Prossy Candia omuyambi w'akulira okunoonyereza ku buzzi bw'emisango ku poliisi eno, Badru Mirambi ne Marvey Jamal. Kigambibwa nti ofiisi okukwata omuliro kyaddiridde Rukundo okuteeka Bakole ku nninga amuwe ebizibiti bya bukadde 25 ezaakwatibwa mu musango gw'obufere kyokka ne zitatwalibwa mu kkooti era omusango bwe gwaggwa, gwe baali bavunaana n'asaba bamuddize ssente ze nga tezirabikako. OMULIRO ogwayokezza ofiisi y'akulira okunoonyereza ku buzzi bw'emisango e Katwe, gukyatabudde abantu olw'engeri gye gwakutte akasonda kokka akaabaddemu ffayiro ez'emisango gy'ettemu egy'amaanyi. Ebintu ebirala ebyabadde mu ofiisi nga n'ezisinga mpapula tebyayidde Ffayiro z'obutemu, ebizibiti n'ez'obufere obulimu ssente ennyingi nazo tezaasimattuse. Ensonda ku poliisi e Katwe zaategeezezza nti mu bintu ebyayidde, mwabaddemu ne ffayiro y'omusango gw'okuttibwa kw'omuwala Maria Nagirinya ne ddereeva we Ronald Kitayimbwa abattibwa nga August 28, 2019. Omuliro gwakutte ku Ssande ya wiiki ewedde mu budde bw'ekiro wabula engeri gye gwakutte na buli kati ekyatakuza abatwala poliisi emitwe. Kino kyawalirizza omuduumizi wa poliisi mu ggwanga okuyungula ttiimu eriko abaserikale b'ekitongole ekikwasisa empisa mu poliisi, abanoonyereza okuva ku kitebe kya bambega e Kibuli, n'abalala okuva ku kitebe kya poliisi ya Kampala South, okukola okunoonyereza ebyavuddeko omuliro, Ensonda zaategeezezza nti, ebintu ebyayidde ebirala, mwabaddemu ssente enkalu obukadde 80 nga kigambiabwa nti zaasiridde zonna ne zifuuka bisiriiza, era mwabaddemu n'ebizibiti ebirala ebya ssente obukadde 46, zino kigambibwa nti zabbiddwa. Kino kyatadde akulira okunoonyereza ku buzzi bw'emisango ku poliisi eno, ASP Gloria Rukundo mu kattu era kyategeerekese nti yakwatiddwa n'akola sitetimenti oluvannyuma n'ayimbulwa ku kakalu ka poliisi. KITEGEEZA KI KU MUSANGO GWA NAGIRINYA? Nga March 14, 2020 omulamuzi w'eddaala erisooka ku kkooti y'e Nateete, Joel Wegoye, yasindika abasajja musanvu abagambibwa okutta Nagirinya mu kkooti enkulu batandike okuwoza. Ku lunaku olwo, abasibe tebaaleetebwa mu kkooti, baali ku ka ttivvi (video conferencing) mu kkomera e Luzira omulamuzi n'abategeeza nti, abasindise mu kkooti enkulu. Abaasindikibwa mu kkooti enkulu kuliko; Coporiyamu Kasolo eyeeyita Arsenal, Johnson Lubega eyeeyita Etoo Rasta Manonmano, Nasif Kalyango eyeeyita Moyonge, Hassan Kisekka, Sharif Mpanga, Sadat Kateregga ne Raymond Okori. Omuwaabi wa Gavumenti mu musango guno, Immaculate Nambaju yategeeza kkooti nti, okunoonyereza kwali kuwedde era bajja kwesigama ku sitetimenti z'abavunaanibwa abakkiriza nti be batta Nagirinya n'ebifaananyi ebyakwatibwa kkamera z'oku nguudo. Nambaju yategeeza kkooti nti, era baali baakwesigama ku bbaluwa y'omusawo eyalaga nti, Nagirinya ne Kitayimbwa baafa oluvannyuma lw'okukubwa ekintu eky'amaanyi ku mitwe gyabwe. Bino byonna byateekebwa ku ffayiro y'omusango era omwogezi w'essiga eddamuzi, Solomon Muyita yagambye nti, abasibe balinze kutandika kuwozesebwa. Muyita yagambye nti, ekibadde kirwisizza omusango guno okutandika, obulwadde bwa Corona bwe bwajja mu ggwanga, kkooti enkulu yayimiriza okuwulira emisango gyonna naddala egy'amaanyi kubanga ekitongole ky'amakomera kyayimiriza okutwala abasibe mu kkooti. Yayongeddeko nti, omusango basuubira gujja kutandika mu lutuula lwa kkooti olunaddako singa Corona anaaba alinnyiddwa ku nfeete. BULI MUSANGO TUGUKOLERA FFAYIRO BBIRI - POLIISI Omwogezi w'ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw'emisango, Charles Mansio Twine bwe yatuukiriddwa yagambye nti, waliwo ebiwandiiko eby'omugaso ebyayidde kyokka tewali ffayiro ya musango gwonna yayidde. Yagambye nti omusango gwonna ogw'obutemu bwe gusindikibwa mu kkooti enkulu, ffayiro eva ku poliisi n'egenda mu ofiisi y'omuwaabi wa Gavumenti era y'aba agirinako obuvunaanyizibwa n'ategeeza nti, ne bw'eba eri ku poliisi, tebeera mu ofiisi y'akulira kunoonyereza ku buzzi bwa misango. "Ffayiro bw'ejja, akulira okunoonyereza ku buzzi bw'emisango agiyitamu n'agiweereza ew'omuserikale agenda okugikolako." Twine bwe yagambye. Yayongeddeko nti, bwe bamala okunoonyereza ku musango gwonna omunene, ffayiro bagikolamu kkopi era kkopi ebeera ekoleddwa, esigala ku poliisi ate ffayiro entuufu (original) n'etwalibwa ku kitebe kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw'emisango e Kibuli. "Abasibe abali ku musango gwa Nagirinya tebeeyibaala nti ffayiro yayidde," Twine bwe yagambye. Ensonda zaategeezezza nti, omusango gwa Nagirinya gulimu ekitategeerekeka wadde ng'abaakwatibwa bakkiriza nti be baamutta. Mu kusooka, waliwo ebyali bigambibwa nti, waliwo eyapangisa abavubuka nga abasinga baali baakava mu kkomera okutta Nagirinya nti era, omulimu baagubaweera mu kkomera e Luzira kyokka n'okutuusa kati, omuntu oyo eyali ayogerwako takwatibwa nga. OMUSANGO NZE NAGUKWASA KATONDA - KITAAWE WA NAGIRINYA Nagirinya yali muwala wa Francis Kimbowa omutuuze w'e Nsambya era yali akola mu kitongole kya CIDI, kitaawe n'abalala kye baatandika e Muyenga. Lubowa bwe yatuukiriddwa yagambye nti, omusango gw'okutemulwa kwa muwala we, yagukwasa Katonda kubanga byamulema okutegeera. "Abaserikale bajja wano ne bah− hamba tewali kyamaanyi kigenda kuguvaamu kubanga abaakwatibwa baagambye nti, baava awaka nga bagenze kubba ng'enziba eyaabulijjo naye agenze okubba awamba n'atta?" Lubowa bwe yeebuuzizza. Nagirinya yawambibwa okuva mu Nabisasiro zooni e Lubaga ne ddereeva we ne babatta, emirambo ne bagisuula mu lusenyi lw'e Nakitutuli ku luguudo oluva e Mukono okudda e Kayunga. Lubowa akkiriza nti, muwala we waliwo omuntu eyapangisa abatemu okumutta era yagambye nti, singa baali bagenze kubba, tebandimusse omulambo ne baguvuga ne bagutwala ne bagusuula ate emmotoka ne bagivuga ne bagikomyawo e Kampala okumpi ne we yali asula. ABANTU MUNAANA BAKWATIDDWA Poliisi yakutte abantu munaana okuli n'abaserikale ba poliisi mukaaga ne baggulwako emisango omuli okukozesa obubi ofiisi, okwekobaana okuzza omusango n'okwonoona ebizibiti. Abaakwatiddwa kuliko; Karim Bakole akulira sitoowa ya poliisi e Katwe, D/IP Kibuuka, omuserikale wa Flying Squad eyategeerekeseeko erya Kawaawa, IP Ejonu, PC Esther Among akulira ekkomera ly'abakazi, Prossy Candia omuyambi w'akulira okunoonyereza ku buzzi bw'emisango ku poliisi eno, Badru Mirambi ne Marvey Jamal. Kigambibwa nti ofiisi okukwata omuliro kyaddiridde Rukundo okuteeka Bakole ku nninga amuwe ebizibiti bya bukadde 25 ezaakwatibwa mu musango gw'obufere kyokka ne zitatwalibwa mu kkooti era omusango bwe gwaggwa, gwe baali bavunaana n'asaba bamuddize ssente ze nga tezirabikako.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts