Sunday, September 13, 2020

Kalidinaali akungubagidde omugagga Kitaka

Kalidinaali akungubagidde omugagga Kitaka






Agambye nti kino kyeyolekedde mu ngeri gy'abadde amulambulamu n'okumuyamba mu byetaago bye ebitali bimu.

Asaasidde bonna ababadde bamulinako akakwate naddala, ab'omu maka ge abooluganda abako n'ab'emikwano nti Omukama abagumye mu kiseera kino eky'okunyolwa.

" Kitaka abadde musaale mu kujjanjaba abantu, ebisolo n'ebirime era kinnajjukirwa nti ono asukkulumye mu kuyamba abantu  okulamaga munsi entukuvu.

Omukama Katonda yekka yaatusaanyiza eggulu ng'asinziira ku birungi by'aba atusobozesezza okukola mu bbanga ly'atugerera ku nsi.

Abooluganda n'emikwano mbakwasa  ebigambo by'Omutume Paul bitugumye mu kiyongobero ffenna kye tulimu nti  mu bulamu ne mu kufa tusigala tuli ba mukama," bw'atyo Kalidinaali  bw'ategeezezza mu bubaka.

Afundikidde na kyawandiikibwa ekya Romans 14:8.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts